Essomero lya Gavumenti erya Kololo SSS liraze obutetenkanya mwe liyita okukuuma obutonde bwensi n’okukuuma omuddo ogwa kiragala mu mpya zaalyo wakati mu mujjuzo gw’abayizi abasoba mu 5,000 be lirina.
Abayizi Ba Kololo Sss nga Balaga Amanda Ge Bakola.
Bw’otuuka mu ssomero lino esisangibwa ku luguudo lwa Lugogo – Bypass, ekikwaniriza bwe bupande obulaga obutonde bwe bulaajanira abantu obutabwonoona obutudde mu mpya ensibeko enkomera ezirimu omuddo ogwa kiragala wamu n’emiti egikutte kiragala ne weewuunya engeri abayizi gye babeera ku ssomero nga tebabyonoonye.
Abatwala essomero lino n’abasomesa abakulira okukuuma obutonde bw’ensi okuli Racheal Akol ne Margaret Nyafwono balaze obuyiiya bwe baatandikawo okutangira abayizi okulinnyirira omuddo.
Baatandikawo okukola enkomera mu bucupa obwandyonoonye obutonde bw’ensi
Omusomesa Akola gamba nti buli we baasimbaga omuddo mu buwugiro bw’essomero obw’enjawulo ng’abayizi bagulinnyirira nga gukala olw’okuba bangi nnyo abatayinzika kukugirwa basomesa buli we balaga.
Abayizi Ba Kololo Sss Nga Balaga Emipiira Gye Bakola Mu Buveera Okutaasa Obutonde Bw'ensi.
Agamba nti ne bwe baasimbanga obukomera obwetooloola obuwugiro buno era abayizi baabubuukanga ne bayita mu muddo kw’ossa okuleka nga babukyafuwazza ng’essomero lirina okuteekamu ssente nnyingi okusasula abakozi abalirongoosa.
Agamba nti kyokka yajjirwa ekirowoozo bwe yali yeefumiitiriza ku kukendeeza obucupa omuli obw’amazzi n’obwa soda ebinyweba abayizi ku ssomero nga bwali bususse obungi n’ayiiyanti bwe baba bakozesa okukola enkomera.
Abayizi Ab'ekibiina Kya Green Schools Nga Bayonja Essomero
Bali wamu n’abayizi abali mu kiraabu ya ‘Green Schools’ abasukka mu 40, baatandika okukola enkomera zino nga bakozesa obucupa bwe bakubamu obutuli ne babwambaza mu waza ze basiba ku nkondo ze beetoolooza ebuwugiro buno bwe balekako ekkubo limu eri abo abaagala okugendamu ka tugambe nga mwe basazeewo okusomera.
Okwongera okulungira endabika y’essomero obucupa buno babusiigako Langi z’essomero omuli enjeru, emmyuukirivu ne kitozi (Gray) olwo essomero lyonna ne limyamyansa.
‘’Bw’otunulamu we tugenze tuteeka obukomera buno wonna wanyirira ate we tutannatuuka wakaabye n’amaziga. Kaweefube waffe kwe kulaba nga tubunyisa enkomera zino wonna mu ssomero kubanga kitutaasizza nnyo okukuuma obutonde omuli n’ebimuli byaffe.’’ Omusomesa Nyafwono bw’agamba.
Abasomesa (racheal Akol Ku Kkono), Ne Munne Margaret Nyafwono Nga Balaga Akasero Ak'enjawulo Ke Baakola Mu Bucupa.2
Ebirala bye bakola mu bukyupa okutaasa obutonde
Bano obucupa babukolamu n’ebisero ebikung’aanyizibwamu kasasiro ku ssomero nga mu buli kibiina baagenda bateekamu ekisero ne mu bunyomero bw’essomero obw’enjaawulo.
Mu bisero bye bakola, balinamu obw’enjawulo bwe twasanze ku ofiisi ne mu sitaafu y’abasomesa nga bwo omuyizi bw’ayiga okubukola asobola n’okubufunamu ssente olw’endabika yaabwo ennungi ddala.
Okulongoosa okwa buli lunaku
Bannakololo balina enkola nga mu wiiki buli kibiina kirinamu olunaku lwakyo. ‘’Buli kibiina okugeza S1, kirimu ebibiina ebirala mwenda, nga bye tugoberera olwo bwe biggwaayo ne tukwata ebya S2 olwo ne twambula bwetutyo. Akol bwe yagambye.
Bano baaateekawo enkung’aanya ya kasasiro ry’enjawulo, ng’obucupa babukung’aanya mu bukutita bwe baateeka mu bunyomero obw’enjawulo, empapula n’obuveera mu budomola ate ebirala ne biteekebwa mu bisero ebinene.
Abasomesa (racheal Akol Ku Kkono), Ne Munne Margaret Nyafwono N'abayizi Baabwe N'abayizi Abali Ku Kibiina Kya Green Schools.600
Okusomesa ku kutaasa obutonde
Ng’oggyeeko obupande obusomesa ebyokukola okutaasa obutonde (obujjudde obuwugiro bw’oluggya lw’essomero) abayizi abali mu pulojekiti ya Green Schools basomesa bannaabwe mu nkung’aana ez’enjawulo ku buttoned nga bayita mu nnyimba, ebitontome, emboozi eziwandiikibwa Bukedde ne New Vision ne bayiga enkuuma y’obutonde n’okukitegeera nti buvunaanyizibwa bwa buli omu.
Mu biralala bye bakola mulimu:
Abakulira essomero kye bagamba
Adrine Kabananukye, omumyuka w’omukulu w’essomero lino, yagambye nti ensigo enkulu gye bazze basiga mu bayizi baabwe kwe kumanya nti okukuuma obutonde bw’ensi, buvunaanyizibwa bwa buli omu kubanga buli omu obulamu abwetaaga.
Abayizi Ab'ekibiina Kya Green Schools Nga Bayonja Essomero.
Yagambye nti kye bava bakola nga ttiimu okulaba nga tewali basuulasuula kasasiro buli we basanze, obutasaanyaawo kiragala ku ssomero n’okukola bulungi bwansi nga kino abayizi bwe bakiyiga bakitwala n’eka gye babeera ne bakwata omumuli mu kusomesa abalala ku kukuuma obutonde.
Yagambye nti nga obukulembeze bw’essomero, ba kusigala nga bawagira enteekateeka zonna eziwagira okukuuma obutonde nga basiga mu baana empisa ez’okubukuuma.
Abayizi Ba S3 Abalenzi Nga Balongoosa Essomero.