Abantu basatu batwaliddwa mu ddwaaliro nga bafunye ebisago , ggaasi bw'ayabikidde mu bbaala e Kansanga mu diviizoni y’e Makindye mu Kampala n'abalumya.
Bino bibadde ku Keren Bar and Restaurant e Kansanga era poliisi edduse bukubirire okuzuula ekituufu n'okusambajja ebyo ebibadde birowoozebwa nti bbomu.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti ebintu ebiwerako byayonoonese era ng'anaabalumiziddwa bakyagenda mu maaso n'okufuna obujjanjabi.