Amawulire

Gavumenti eweze eby’okunywa ebirimu eddagala eriwaga abasajja ebiyise ku katale

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga kiweze ebyokunywa ebiyiise ku katale omuli ekirungo eky’obulabe ekifaanana ‘Viagra’ ne kirabula Bannayuganda naddala abasajja ababyekatankira nga banoonya okufuna ‘Waaka’ mu buliri.

Omwogezi w’ekitongole kya NDA, Abiaz Rwamwiri ng’alaga ebimu ku by’okunywa bye baazudde nga bya bulabe mu lukung’aana lwa.png
By: Bya SIMON PETER TUMWINE NE LAWRENCE KIZITO, Journalist @New Vision

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga kiweze ebyokunywa ebiyiise ku katale omuli ekirungo eky’obulabe ekifaanana ‘Viagra’ ne kirabula Bannayuganda naddala abasajja ababyekatankira nga banoonya okufuna ‘Waaka’ mu buliri.


Ekirungo eky’obulabe kiyitibwa ‘Sildenafil’, nga kiri mu by’okunywa naddala ekiriko ebigambo ‘Boisson Energetique Tre Puissante’, nga kitundibwa mu bbaala ne mu maduuka
ag’enjawulo.


Omwogezi wa National Drug Authority (NDA) Abiaz Rwamwiri yagambye nti, ebyokunywa bino abasajja babyettanidde, kubanga bibawaga nga bagenda okwegatta mu nsonga z’omukwano, naye nga kiteeka obulamu bwabwe mu bulabe era tebikkirizibwa mu

mateeka.


Okusinziira ku kunoonyereza, Rwamwiri agamba nti, abasajja bangi abettanidde eby’okunywa bino mu butamanya tebamanyi nti, bya bulabe eri obulamu bwabwe, kubanga eddagala lya ‘Sildenafil’, likozesebwa okujjanjaba obulwadde bw’abasajja abatasituka bulungi, naye ng’okulikozesa abasawo balina okumala okwekebejja omubiri gwo, okulaba oba gusobola okuliwanirira.


Eky’okunywa kino era baazudde nti, kiva mu ggwanga lya Congo, era abakitumbula mu Uganda bagamba nti, kiyamba abasajja okuzannya eddakiika 90 nga bali mu kisaawe, ekisikiriza abasajja bangi okukyettanira, nga baagala okukakasa abaagalwa baabwe.

 

Enkozesa embi ey’eddagala lino, Rwamwiri yagambye nti, evaako endwadde endala omuli puleesa, kammunguluze, ekifu ku maaso, n’okwewanika okumala ebbanga eddene mu basajja abalikozesa, n’endwadde endala.

 

Abantu abanywedde ku ky’okunywa kino, ne batuuka ne bafuna obubonero bwa Puleesa, kammunguluze, ekifu ku maaso, n’ebirala, badduke mangu mu ddwaaliro bafune obujjanjabi, ng’embeera tennasajjuka.


Yakubirizza abantu nti, bwe basanga eky’okunywa kino mu bbaala oba mu maduuka batemye ku kitongole kya NDA oba Poliisi, basobole okubibowa bive ku katale.


Ye avunaanyizibwa ku by’okulung’amya akatale k’eddagala mu NDA, Brain Ssekayombya, yagambye nti, eby’okunywa bingi ebiri ku katale, ng’ababikola baafuna olukusa okuva mu bitongole ebirala, kyokka bwe batuuka ku katale nga baagala okutunda ennyo, balanga beewaana nti, eby’okunywa ebyo birina endwadde ze bijjanjaba, ekintu ekitali kituufu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Sildenafil
National Drug Authority
NDA
Congo