Amawulire

NDA eweze ebyokunywa bya kkampuni ya 'The stronger weekend Products' eby'amaanyi g'ekisajja

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'eddagala ekya National Drug Authority (NDA) kiyimirizza okusuubuza n'okutunda ebyokunywa bya 'The stronger weekend Products' omuli: The stronger weekend Pineapple Still Table Wine ne The stronger weekend Opaque Beer ebikolebwa kkampuni ya Thembomar Investments esangibwa e Mpondwe - Kasese olw'okubeera eby'obulabe eri obulamu bw'omuntu.

NDA eweze ebyokunywa bya kkampuni ya 'The stronger weekend Products' eby'amaanyi g'ekisajja
By: Wilson Ssemmanda, Journalist @New Vision

Okusinziira ku mwogezi wa NDA, Abiaz Rwamwiri, ebyokunywa bino birimu ekirungo ekyongera ku maanyi g'ekisajja ekya Viagra oba kiyite Sildenafil Citrate eky'amaanyi ennyo nga kisaana kukozesebwa mu bipimo ebiweebwa abasawo abakugu.

Yagambye nti baamaze dda okukwatagana n'ekitongole ky'omutindo mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) okuyimiriza okukola ebyokunywa bino n'okuteeka kkampuni ebikola ku nninga baggyeyo ebyo byonna ebiri ku katere n'alabula nti abikozesa aba yeesudde yekka mu bunnya n'agamba nti olw'amaanyi g'ekirungo ekiri mu byokunywa bino kivaako n'abantu okufa n'alabula Bannayuganda bonna okukyewala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: