GAVUMENTI etadde ekkomo ku magoba Bammanerenda ge babadde baggya ku bantu be bawola, oluvannyuma lw’abantu ab’enjawulo omuli n’ababaka ba Palamenti okulaajana nga beemulugunya ku magoba amayitirivu ge baggya ku bantu.
Minisita w’eby’ensimbi, Matia Kasaija, yafulumizza ekiragiro mu katabo ka Gavumenti akatongole aka Uganda Gazette, ng’akozesa obuyinza obumuweebwa mu kawaayiro ak’e 89 (1) ak’etteeka eriruhhamya emirimu gya Bammannerenda erya ‘Tier 4 Microfinance Institutions And Money Lenders Act’.
Ekiragiro kigamba nti, buli Mmanerenda talina kuwola muntu ssente ku magoba agasukka ebitundu bibiri n’obutundu munaana ku 100 buli mwezi, ate buli mwaka teri mmanerenda akkirizibwa kuwolera ku magoba agasukka ebitundu 33 n’obutundu mukaaga ku buli 100.
Mu 2022, Pulezidenti Museveni yali yawa Minisitule w’ebyensimbi ekiragiro okukola etteeka eriruhhamya amagoba Bammanerenda ge baggya ku bantu, kyokka bulijjo babadde tebakiteekanga mu nkola.
Ekiragiro kino we kijjidde, nga Pulezidenti Museveni azze yeekokkola engeri Bammanerenda gye bakolamu emirimu, mwe bayita okwegaggawaza nga banyunyunta abantu mu kifo ky’okubayamba.
Museveni ng’asinziira mu lukuhhaana olugatta Bassaabalamuzi mu mawanga g’Obuvanjuba n’Obukiika ddyo bw’Afrika, olwali e Munyonyo omwezi oguwedde, yalayira okufiira ku Bammanerenda abakozesa omukisa gw’okuba nti, tewali tteeka libakomako ku magoba ge balinaokusaba abantu, ne babba Bannayuganda ne bakamala, nga babawolera ku magoba amayitirivu.
Waliwo Bammanerenda Museveni b’agamba nti, batuuka n’okuwolera ku bitundu 240 ku 100, ekiremesa abeewola okusasula, ne bafundikira nga bamututteko ebintu bye.
ENGERI BAMMANERENDA GYE BAKAABIZZA ABANTU
Mu mboozi ez’enjawulo BUKEDDE z’azze afulumya ku Bammanerenda, abamu babadde baava mu kuba abanyunyunsi ne bafuuka Bakanywamusaayi, nga bawolera ku magoba ga bitundu 30 ku 100 buli mwezi, ate abazibu ennyo nga ziba za buli wiiki.
Kino kitegeeza nti, bw’akuwola akakadde ku magoba ga bitundu 30 ku 100, obeera omuddiza akakadde kamu n’emitwalo 30 mu bbanga lya mwezi oba wiiki. Kyokka abamu amagoba gaabwe gabadde waggulu nnyo n’okusinga awo. Embeera eno evuddeko abantu okufiirwa eby’obugagga byabwe omuli Pikipiki, emmotoka, ettaka, ennyumba, abamu ne basibira ne mu makomera.
Waliwo Bammanerenda abalala Bakanywamusaayi, abakozesa abantu endagaano ezaakazibwako ez’embaata, oba ‘Mpa akamyu nkuwente’, nga wano Mmanerenda akuwola ssente kyokka endagaano ne mukola eraga nti omuguzizza.
Ennaku z’okumusasulirako bwe zituuka, abamu nga babulawo n’ekigendererwa eky’okutwala eky’obugagga kyo, ate abaakala amaaso beefuulirawo n’agamba nti, wamuguza, era asobola n’okukutwala mu kkomera n’akusiba nti, omwefuulira. W’oviirayo nga ebyobugagga byo bitwaliddwa.
Abamu ku bantu abatwaliddwaako ebintu byabwe mu mbeera eno, kuliko Munnamagye wa UPDF, Kassim Kavuma, omutuuze w’e Kalungu ku kyalo Master Cell ku luguudo oludda e Masaka. Kavuma ne mukyala we Stephaniya Naluggwa, beewola emitwalo 50 okuva ku Mmanerenda Vincent Kakeeto nga baali baakumuddizaamu emitwalo 70 mu bbanga lya mwezi gumu.
Endagaano Kavuma agamba nti, baakola ya ‘mbaata’ nga balaga nti, Kakeeto bamuguzizza kyokka nga beewola ng’enkola ya Bammanerenda bw’etera okuba. Ebbanga ery’omwezi lyayitawo nga ssente Kavuma ne mukyala we zibalemeredde, kyokka nti, baalwana ne bajja nga basasula ppaka ku bukadde bubiri n’emitwalo 80, kyokka buli lwe baddangayo nga basanga ssente zeeyongera bungi, ppaka poloti yaabwe gye baali baasingayo Kakeeto bwe yagitwala nga takaluubiriziddwa kubanga endagaano baali baakola ya “Ntunze”.
Ate ye, George Mulumba omutuuze w’e Wanyange Lake mu kibuga Jinja, yeewola 1,500,000/- okuva ku Munnamagye Habibu Muhammad Bbumba, eyali akola ogw’okuwola ssente mu kibuga Jinja, era yasingayo nnyumba kyokka endagaano ne bakola ya ‘Ntunze’. u mwezi gumu, yalina kumuddiza amagoba ga 450,000/- kyokka omwezi we gwaggweerako yali akyanoonya ssente. Olw’okulemwa okusasula mubudde, Bbumba eby’okuwola yali takyabimanyi ng’agamba yagula, era n’atwala ennyumba ya Mulumba n’atandika okugisulamu ku 1,500,000/- ze yamuwola.
Mulumba kkooti yasobola okumutakkuluza ku Bbumba, wakati mu kusika omuguwa okw’amaanyi bw’atyo n’asimattuka amannyo g’empisi.
BAMMANERENDA BAWAKANYIZZA ETTEEKA
Bammanerenda abeegattira mu kibiina kya ‘Association Of Non-Deposit Taking Microfinance Institutions’, bagamba nti, ekiragiro kya Minisita Kasaija si kya bwenkanya, kubanga Gavumenti si y’ebawa ssente ze bawola abantu, nga kiba kikyamu ate okubateekako ekkomo ku magoba ge basaba.
Omwogezi w’ekibiina kino Raymond Peter Kiwanuka, yagambye nti mu Bbanka n’ebitongole gye beewola ssente, babawolera ku magoba ga bitundu bibiri n’obutundu butaano ku 100 (2.5 ku 100) buli mwezi, nga tosobola ate kuziwolera ku bitundu bibiri n’obutundu munaana, (2.8 ku 100) kuba obeera tokola.
Yalabudde nti, Gavumenti wadde egezaako kutaasa bantu beewola, naye egenda kubasuula mu ddubi, kubanga Bammanerenda bagenda kuggalawo bizinensi zaabwe abalala baddeyo mu bumenyi bw’amateeka nga bakola endagaano z’embaata, olw’ekiragiro kino. Abantu abeewola, Kiwanuka agamba nti, baba mu bwetaavu nnyo eraBbanka tebazisobola olw’emisoso gyazo nga kati Bammanerenda singa bavaawo, abantu abo bagenda kuba basigadde mu matigga. Abawola ez’embaata nga bakola endagaano za ‘Ntunze’ bagenda kweyongera, ate emiranga gyeyongere n’okusinga bwe bibadde.
Omwogezi w’ekitongole ekiruhhamya emirimu gya Bammanerenda, Edward Bindhe, yagambye nti, ekiragiro kino bagenda kukiteeka mu nkola, era Mmanerenda yenna anaawola omuntu okusukka mu magoba agalambikiddwa, ajja kuba azzizza musango.
Wabula abantu yabakubirizza okwewola ku Bammanerenda abawandiise, kubanga abatali bawandiise bakolera mu bumenyi bw’amateeka, ate enkola yaabwe eba nzibu ya kubakwata mu mateeka, kuba endagaano bakola za ‘Ntunze’.