Amawulire

Ffamire ya Munnayuganda eyafiirira mu kabenje mu Amerika bagiyise okubaawo nga bawa ekibonerezo eyamutomera

Ffamire ya Munnayuganda Elvis Kikuba 21 eyafiira mu kabenje eyitiddwa mu Amerika okuwa endowooza yaabwe n’okunnyonnyola kkooti obulumi bwe balina olw’okuviibwako omwana waabwe oyo.

Elvis Kikuba eyafiira ku kabenje.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Daphine Nakalyoowa Semakula

Ffamire ya Munnayuganda Elvis Kikuba 21 eyafiira mu kabenje eyitiddwa mu Amerika okuwa endowooza yaabwe n’okunnyonnyola kkooti obulumi bwe balina olw’okuviibwako omwana waabwe oyo.

Omuwaabi wa gavumenti bano abayise mu kkooti ya  City of Springflied, Ohio, 50 East ku Columbia Street nga June 21, 2023.

Bino biri mu bbaluwa eriko  ennaku z’omwezi nga May 17,2023 ng’eriko omukono gwa  Jenna  L. wasserman agenda okuba mu mitambo gy’omusango guno.

Ebbaluwa eno yaweereddwa kitaawe w’omugenzi Sam Musisi , nnyina Teddy Nantongo Musisi abaana baabwe abasatu wamu n’abooluganda abalala.

Sam Musisi Kitaawe  W'omugenzi.

Sam Musisi Kitaawe W'omugenzi.

Omusango guno guzze guwulirwa okuviira ddala mu March w’omwaka guno okutuusa lwe gutuuse okusalibwa ng’omuwawaabirwa avunaanwa okutta mu butali bugenderevu.

Omugenzi Elvis Kikuba 21, yali asoma obwayinginiya bwa nnyonyi mu Amerika (Aviation Engineering) mu Sinclair College mu Dayton mu ssaza ya Ohio mu Amerika.

Ng’ono yafiira mu kabenje ddekabusa ku Lwokusatu nga November,9, 2022.

Kikuba yali avuga mmotoka ye ekika kya Ford Fusion, poliisi n’emuyimiriza nga waliwo obubenje bubiri  obubaddewo ono aba adda mu layini endala, mmotoka ya Volvo van gye yawamatuka n’etomera eyiye gye yalimu ne mukwano gwe munnabyamizannyo Musa Kimuli  gwe yali naye.

Omugenzi yagenda nga January 1 omwaka oguwedde n’atandika emisomo gye mu Sinclair College January 8, 2022 ng’aluubirira okusoma obwayinginiya w’ennyonyi  afuuke pulofeesa ekitaasoboka.

Omubiri gw’omugenzi gwakomezebwawo era ne guziikibwa ku Lwokubiri ku biggya bya bajjajjabe  mu disitulikiti y’e Kalungu, mayiro 10 okuva e Lukaya ku luguudo lw’e Masaka ku kyalo Bulwadda.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Munnayuganda
Amerika
eyafiira
kabenje