Famire ya Munnayuganda eyafiira ku nnyonyi ng’agenda Canada etubidde

BAZADDE b’omuwala Evelyn Nakirya, eyafiira ku nnyomyi ng’agenda e Canada bali mu kattu oluvannyuma lw’okulemererwa okufuna ssente ezeetaagisa okuzzaomulambo kuno.

Maama w’omugenzi ng’akutte ekifaananyi kya muwala we eyafiira ku nnyonyi..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Famire #Munnayuganda #nnyonyi #Canada #etubidde

Bya Godfrey Ssempijja

BAZADDE b’omuwala Evelyn Nakirya, eyafiira ku nnyomyi ng’agenda e Canada bali mu kattu oluvannyuma lw’okulemererwa okufuna ssente ezeetaagisa okuzza
omulambo kuno.

Maama w’omugenzi, Sarah Namukwaya, omutuuze mu bizinga by’e Bussi mu Wakiso yategeeezza nti muwala we yasiibula nga October 13, 2023 ng’agenda e Canada era ku nnyonyi yaliko ne muganda we, Vivian Namukambye.

Yategeezezza nti nga October 14, baafuna essimu okuva ewa Vivian ng’abategeeza
nti Evelyn afudde era omulambo guli mu ggwanga kya Iceland.

Yagambye nti kati beetaaga doola omutwalo gumu n’ekitundu (obukadde obusoba mu 56 eza Uganda) okusobola okukomyawo omulambo, wabula basuubira ssente zino okweyongerako kubanga baabawa ennaku 21 ze gulina okumala mu ggwanika
ate nga buli lwe gusulayo balina okusasula ensimbi.

 

Mwannyina wa Nakirya era nga ye yabavuga okubatwala ku kisaawe e Ntebe, Jameson
Muganwa yagambye nti Vivian yakuba essimu ng’akaaba n’amutegeeza nti Nakirya
agudde mu kinaabiro ku nnyonyi n’afa era basigadde mu Iceland.

Ku Lwokusatu, abatuuze b’e Bussi baakungaanidde mu maka ga bazadde ba Nakirya era kitaawe w’omugenzi, Patrick Mukambya Munyweza n’asaba gavumenti ne
be kikwatako babayambe okukomyawo omulambo gwa muwala waabwe.

Ssentebe w’ekyalo Tebankiza, omugenzi gy’azaalwa, Kamya Batulumaayo yategeezezza nti ng’abatuuze bakola kye basobola okulaba nga basonda ku ssente okusobola okukomyaawo omulambo gw’omwana wa mutuuze munnaabwe, wabula ne basaba RDC 'we Wakiso, AIGP akulira Interpol, poliisi n’abakulembeze abalala
okubayambako.