Bya Saul Wokulira
NOELINA Nabunnya 33, yabukeerezza nkokola okudda mu ddya ewa bba Constantine Kivumbi Ssonko 50, gye yanoba emyaka ebiri egiyise. Okusalawo okudda kigambibwa nti yasoose kuwulira luvuuvuumo nti bba era nga kkansala ku ggombolola e Kyampisi, yeefunirayo dda omugole agamutokosereza!
Nabunnya eyazze n’abaana be abana be yazaala mu Kivumbi, ssaako abooluganda, yatuukidde mu maanyi era bba olwamulabyeko n’atandika okutuuyaanirira.
Oluvannyuma yeekakabye n’akangula ku ddoboozi n’alagira Nabunnya okudda gy’ava kubanga yamukoowa okumutulugunyanga n’okumukuba emiggo egyali gimumazeeko n’ennyama!
Wabula Kivumbi yabadde akyakangaza, Nabunnya n’ayitawo ne yeesogga ekisenge okunoonya omugole bubeefuke. Olwo kigambibwa nti omugole eyategeerekeseeko erya Racheal yabadde yeekukumye era wadde Nabunnya yafuukuuzza ennyumba, naye n’amubula olwo ekiruyi n’akimalira ku bintu by’omugole bye yazinzezinze n’abikasuka ebweru.
Katemba ono yabadde ku kyalo Makukuba mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono, era yasombodde baliraanwa bakira abasaakaanya nga bagamba nti Nabunnya okudda mu ddya akoze kituufu.
Kigambibwa nti Nabunnya okutuuka okugenda ewaabwe, yasooka kulwala kumpi kufa kyokka bba Kivumbi n’amusuula mu nnyumba, kwe kusalawo agendeko ewaabwe bamujjanjabe.
Wabula Kivumbi bino yabiwakanyizza n’agamba nti Nabunnya mukazi wa lugono era atagambwako nga bw’atambula okusuubula adda nkeera ate okumunenyaako ng’akola olutalo.
Nabunnya naye yalumizza bba okumukuba nga yatuuka n’okumuwangulamu erinnyo, wadde nga Kivumbi nakyo yakiwakanyizza n’agamba nti erinnyo lyalwala ne baliggyiramu mu kiriniki emu ku kyalo.
Ssentebe w’ekyalo, John Lubowa yayitiddwa n’owaabakyala Irene Nambi ne bayingira mu nsonga.
Bano olwazze omugole Racheal n’avaayo gye yabadde yeekukumye mu muzigo ogumu n’ategeeza nti Kivumbi yamumatiza nga mukazi we bwe yagenda nga si waakudda kwe kujja amufumbire.
Aba LC baawadde Kivumbi omwezi gumu afunire omugole w’amuteeka olwo aleke Nabunnya n’abaana beegazaanyize mu maka.