Don Chris poliisi emuyigga

Poliisi eri mu kuyigga omugagga Christine Asiimwe  amanyiddwa nga Don Chris,  ku bigambibwa nti yanyaze abantu ssente ezisoba mu bukadde 500 ng'abasuubiza okubafunira emirimu ebweru w'eggwanga. 

Don Chris poliisi emuyigga
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Poliisi eri mu kuyigga omugagga Christine Asiimwe  amanyiddwa nga Don Chris,  ku bigambibwa nti yanyaze abantu ssente ezisoba mu bukadde 500 ng'abasuubiza okubafunira emirimu ebweru w'eggwanga. 

Kigambibwa nti abadde akikola ayita mu kampuni ye eya Skypins Tours and Travel abantu gye babadde basasula sente okuviira ddala mu mwaka gwa 2022.

Kitegeezeeddwa nti mu kusooka ofiisi zaali ku Haruna Mall e Ntinda ng'abamu gye baasasulira  wakati w'obukadde busatu okutuuka eyo mu kkumi nga babasuubiza okubatwala ku kyeyo mu UK, Qarter , Dubai, Canada, Luxembourg n'awalala. 

Nti oluvannyuma, kampuni yakyusa ofiisi n'ezizza e Kitende ku luguudo lw'e Ntebe era nga bangi kubazze basasula nga tebatwalibwa bweru ku kola , ensonga kwe kuzikwasa minisita ne CID, okunoonyereza. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agmbye nti bakajja ku bantu 84 sitatimenti era nga balumiriza nti buli lwe babadde bagezaako okubanja ssente , nga babatiisatiisa. Ayongeddeko nti minisitule y'ekikula ky'abantu, tewangako kampuni eyo lukusa kutwala bantu bweru okukola. Agasseeko nti bayigga nnyini kampuni eyo.