OMUVUBUKA eyajja okukola emirimu gya lejjalejja mu kitongole oluvannyuma n’alinnyisibwa amadaala okutuusa okukulira sitoowa y’ebyamaguzi, ab’efuulidde n’abba ensimbi ezisoba mu bukadde 10 wabula akwatiddwa n’asimbibwa mu kkooti emusindise mu kkomera.
Kenneth Kaamulegeya 30, maneja wa stiwooya Kafiika Animal Feeds nga mutuuze w’e Bulenga mu Wakiso y’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Adams Byarugaba mu kkooti ya Nateete Lubaga amusomedde ogw’obubbi.
Kamulegaya asoose n’akkiriza omusango era oludda oluwaabi nga lukulembeddwa Caroline Mpumwire lugenze mu maaso ne lutegeezezza kkooti nti, omuvubuka ono yaweebwa omulimu mu Kafiika mu 2018 ng’omukozi akola egya lejalejja wabula oluvannyuma mu 2021 yakuzibwa n’afuulibwa akulira sitoowa y’ebyamaguzi ku ttabi ly’e Nateete.
Kigambibwa nti wakati wa May ne July 2023, kyazuulibwa nti ssente ezitundibwa mu by’amaguzi ezisoba mu bukadde 10 zaali tezirabikako era omubalirizi w’ebyensimbi bwe yajja yasanga obukadde 79 zaabulira mu mikono gye.
Ono bwe yakwatibwa yategeeza nti ssente yali aziwa omukozi wa bbank wabula eyabyegaana nga bw’atazifunangako newankubadde ebyamaguzi byo byazuulibwa era Kamulegeya n’akwatibwa.
Olwamusomedde engeri gye yazzaamu omusango n’agamba nti ebimu sibituufu era kkooti yakitutte nti omusango agwegaanyi omulamuzi Byarugaba n’amusindika ku limanda e Luzira okutuusa nga August 3, 2023 omusango guddemu.