BANKA ya Equity Uganda eronze Gift Shoko okugikulira oluvannyuma lw'eyaliwo Anthony Kituuka okulekulira.
Equity Bank Uganda efunye agikulira omuggya
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
BANKA ya Equity Uganda eronze Gift Shoko okugikulira oluvannyuma lw'eyaliwo Anthony Kituuka okulekulira.
Ssentebe w'olukiiko olukulu olutwala Banka eno, Mark Ocitti ku Lwokusatu ye yafulumizza ekiwandiiko ekyogerwa ku kulondebwa kwa Shoko gwe yayogeddeko ng'omusajja omugundiivu mu bya bbanka n'ebyenfuna by'alinamu obumanyirivu obw'emyaka egisoba mu 26.
"Shoko azze n'obumanyirivu mu bya bbanka, obukulembeze n'obukugu bw'azze afuna ng'akolera mu mawanga agawerako mu bitundu bya Southern ne Eastern Africa." Ocitti bwe yagambye.
Ocitti yayozaayozezza Shonko ku lwa bboodi n'agamba nti bamusuubiramu enkulaakulana ey'amaanyi, okutumbula obuweereza eri bakasitoma n'abantu bonna mu Uganda.