Wabaddewo ekikangabwa, abaana bana ababadde bali mu kusima amayinja, ekirombe bwe kibabuutikidde babiri ne bafiirawo.
Bibadde ku kyalo Minaana mu ggombolola y'e Ttamu mu disitulikiti y'e Mityana, abaana okuli ow'emyaka Omukaaga n'omusanvu, bwe bafiiridde mu Kirombe nga basima n'okusomba amayinja.
Kigambibwa nti abaana bano, babadde bayamba ku jjajjaabwe, kyokka ng'ababiri basobodde okutaasibwa era omu ku bo, n'atwalibwa mu ddwaaliro e Mityana okufuna obujjanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti abantu bano, baasooka kubalabula ku kabenje akayinza okubaawo nti kyokka ne batafaayo.
Agasseeko nti emirambo giggyiddwayo ne gitwalibwa mu ggwanika okugyekebejja ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.