HAJJI Musa Ssewava eyazaalibwa mu maka amanaku e Luweero yasooka kusoma busomesa bwa pulayimale, n’akuguka mu kubala ebitabo n’amateeka nga w’afiiridde nga mugagga muvundu.
Muky. Aisha Kayingo mwannyina wa Ssewava abeera mu Kiweesa e Buloba yagambye nti omugenzi yazaalibwa mu 1960 e Kapeeka mu ggombolola y’e Kalagala e Luweero. Azaalibwa abagenzi Bumaali Ssebalamu Ssewava ne Perepetwa Kaliko.
Okuva mu P1 okutuuka mu P4 yasomera Kapeeka kyokka ebibiina ebyaddako ebya pulayimale yabisomera Luteete e Luweero ku bukojja. Kitaabwe yafa mu lutalo mu 1983.
Waliwo mukwano gwa kitaabwe gw’ajjukirako erya Lule eyakwata ku Ssewava n’amutwala e Kibuli PTA n’amuweerera n’asoma obusomesa bwa pulayimale.
Omulimu gwe yasooka okukola gwali gwa kusomesa ku masomero agawerako nga Kalasa Primary School e Luweero ne Kalasa. Oluvannyuma yeeyongera okusoma
n’agenda ku yunivaasite e Makerere n’atendekebwa mu kubala ebitabo.
Oluvannyuma yapanga n’agenda e Bungereza n’ayongera okubanguka mu kubala ebitabo. Yagenda okukomawo nga kafulu mu kubala ebitabo ng’asomye n’amateeka.
Bwe yakomwao mu 1986 yali atunda nga keeki eyokya era aba minisitule y’ebyenjigiriza baamuweerawo omulimu gw’okubeera omubalirizi w’ebitabo byabwe. Yakolerako n’ekitongole ekiramuzi ne minisitule y’ebyobulambuzi nga onna abalayo ebitabo.
Kyokka yakoowa mangu eby’okukozesebwa n’alekulira emirimu gya Gavumenti n’atandika essomero erirye erya Kyengera Parents School eryazaala amasomero ga Sir Apollo Kaggwa amalala gonna.
Ng’oggyeeko amasomero, Ssewava abadde n’ebizimbe kumpi mu buli kitundu kya
Kampala n’emiriraano era abadde akozesa abakozi abasoba mu 1,000.
Ye nannyini kizimbe kya Najim Mall e Ntinda, Faizal Mall ku Sir Apollo Kaggwa, ekizimbe ku Arua Park, ekizimbe ku Kaleerwe, amayumba e Naggulu, ebisulo, by’abayizi e Makerere-Kikoni, amayumba e Naalya, Bweyogerere, Naakulabye
ne Kireka.
ABADDE MUNYWEVU KU BUSIRAAMU
Hajji Ali Kibirige abadde mukwano gwa Ssewava yagambye nti obudde bw’omugenzi obusembyeyo abadde yabuwaayo ku mirimu gy’Obusiraamu n’okuyamba abali mu buzibu.
“Ekyenjawulo ku bagagga abalala abadde mwetoowaze nga teyeeraga ate nga ne bw’aba adduukiridde kizibu okumanya”, Kibirige bwe yagambye.
Mu wiiki abadde asiiba ennaku bbiri buli lwa Mmande n’Olwokuna. Tewali nsonga
ya Busiraamu gye babadde bamugamba n’atadduukirira era Emizikiti gy’ataddeko ssente mingi nnyo.
Kyokka waliwo gy’azimbye obw’omu nga ogwa Masjid Fauzi ogw’e Buloba ne Masjid
Fauzi ku Sir Apollo Kaggwa Road.
Ensonga y’okuyamba abali mu buzibu abadde agifaako nnyo era ng’abadde yatandika
ekifo ekirabirira abaana abatalina mwasirizi ekya Buloba Steep Project ekibadde kimaze
omwaka ogumu n’ekitundu.
Yusuf Kasirye omu ku bakulembera Omuzikiti gw’e Buloba yagambye nti omugenzi yagula ettaka n’abazimbirako Omuzikiti gwa kalina, yekka.
eyakoma awo, wabula yasigala nga y’avunaanyizibwa ku kugulabirira mu buli kimu
ng’okusasula amazzi, amasanyalaze n’abakozi okutandikira ku Imaam.
Ku lunaku lwa Idd ebadde nkola ye ng’asiibulula Abasiraamu n’abatali ate nga tavaayo
kweyogerako ku by’aba akoze.
Abadde ayagala nnnyo okumanya ebikwata ku ddiini y’Obusiraamu era abadde alina Sheikh akeera ewuwe buli lunaku okumuyigiriza Kulaani.
AB’E BULOBA BAGENDA KUMUSUBWA
Ssentebe wa L.C 1, owa Bwotansimbi-Kiweesa e Buloba, Dan Kiwanuka yagambye nti
bafiiriddwa nnyo omutuuze abadde ow’enkulaakulana.
Ebbanga lye bamulabidde abadde talina lutalo ku muntu yenna ng’abatuuze ne bwe
bamusobya tava mu mbeera.
Bamujjukira olw’okubakkiriza ne bakozesa ekibangirizi kye ne bassaawo ekisaawe abatuuze we bazannyira emizannyo awatali kusasuzibwa ssente yonna.
Ekyewuunyisa bwe babeera n’obwetaavu bwa ssente ng’ekitundu nga y’asinga okusonda.
Waliwo mutabani we eyamufaako emabega n’ateekawo ekikopo ky’okumujjukira era
abatuuze ne bakiwakanira.
“Siryerabira lwe baasala ssehhenge we ne bamubba. Nnali ndowooza nti ku olwo agenda kuva mu mbeera asibe abatuuze kuba byali byogerwa nti be baamubba. Kyokka yagula mulala n’abivaako, ndowoozo n’ababbi ne beekuba mu kifuba”, Kiwanuka bwe yagambye. Mikwano gy’omugenzi baagambye nti abadde yabagamba
bamunoonyeze ettaka eriwerako yiika ttaano e Buloba abazimbireko essomero eriri ku
mutindo kyokka nga lisasuza ssente ezigya mu mbeera y’abatuuze. Waliwo yiika ssatu
z’abadde yaakagula e Buloba naye tekimanyiddwa oba nga
w’abadde ayagala okuteeka essomero.
E Buloba abadde alinamu ettaka eriwerako ly’abadde tannaba kukulaakulanya kyokka
ng’alinamu n’ebizimbe ebinene.