ENSI yonna yakuzizza olunaku lw’abapunta mu ggwanga olwa Global Surveyors Day nga March 21 n’ekiruubirirwa ky’okujjukiran omulimu omukulu ogukolebwa abapunta mu kutumbula ebyobuzimbi, okukola emirimu, okuyiikuula n’okukulaakulanya eby’ettaka.
Olunaku terubeerako kujaguza kwokka olw’ebikoleddwa, kyokka kubeerako n’okuwanyisaganya amagezi, n’okuwagira emirimu emirungi egikulaakulanya eggwanga.
Mu Uganda, okupunta ettaka ky’ekimu ku bintu ebikulu mu kuddukanya ettaka. Kikwata ku nkulaakulana y’ekibuga, okukuuma obutonde bw’ensi ne pulojekiti z’eggwanga.
Jasper Kakooza, akola nga kamisona avunaanyizibwa ku by’okupunta mu minisitule
y’ebyettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga, agamba nti, okupunta kisinga
ku by’ettaka okwawukanako ng’abamu bwe babadde balowooza kuba gwe musingi
gw’ebyenfuna, enzirukanya y’ettaka eyeesigika n’okukuum butonde bw’ensi.
Kakooza agamba nti, okuvumbulwa kwa tekinologiy wongedde okwanguya ebyokupunta ettaka mu nkola nga;
Geographic Information Systems (GIS), drone mapping n’enkola y’okuteeka ebyapa ku mutimbagano.
Era singa abantu bongera okwettanira tekinologiya ow’omulembe, Uganda ejja kuba n’enkulaakulana etegekeddwa obulungi, okukendeezam entalo z’ettaka n’okutaasa
obutonde bw’ensi.
OBUKULU BW’OKUPUNTA MU KUTEREEZA EMBEERA Y’OBUDDE
Okupunta ettaka kuyamba kinene okutereeza embeera y’obudde kuba eyamba okuwa
ekifaananyi ku nkyukakyuka mu mbeera y’obudde n’engeri gye kiyinza okwewalika.
“Okunoonyereza kwonna okukolebwa bannassaayansi kulina kutandikira mu kuwaayo mawulire matuufu,” Kakooza bw’agamba.
Abapunta bayamba okumanya ebifo ebisobola okulumbibwa amataba ne beekenneenya
n’enkulaakulanya n’obugumu bw’ettaka.
Okugeza mu bifo nga Buduuda awatera okubeera okubumbulukuka kw’ettaka, abapunta basobola okukimanya nga tekinnabeerawo era bye bazuula biyamba mu kwetegekera
ebibamba era ne basala amagezi ku ngeri y’okukyetegekera obulungi.
Ensi nga Japan zirina tekinologiya aziyamba okwetangira musisi ng’obukugu buno bubaweebwa abapunta.
OKUPUNTA ETTAKA BWE KIYAMBA OKUTAASA EBIBIRA N’ENTOBAZZI
Abapunta bakola kinene okutaasa entobazzi, ebibira n’amakuumiro g’ebisolo nga balamba ensalo zaabwe ne kitangira abantu okulisaalimbirako. Kyokka okusoomoozebwa kwe basanga be bantu abeesenza ku ttaka mu bukyamu, abatema
ebibira awamu n’obutabeera na ssente zimala kupunta ttaka ddene.
Kakooza agamba nti, Uganda yandibadde ekoppa ekikolebwa ensi ezimu ez’okukkiriza abantu okusenga mu bibira nga bwe bataasa obutonde bw’ensi singa babeera baweereddwa amateeka ge balina okugoberera. Kino kiyambako nti, ne bwe wabeerawo
eyeesenzezza ku ttaka ly’ekibira, ababeeramu bennyini bamulemesa.
Enkola y’okuteeka ebyapa mu kompyuta Enkola eyatandikibwa ey’okukyusa ebyapa byonna ne babizza ku mitimbagano gya kompyuta kiyambye okutereeza mpeereza.
“Emabegako ng’okukebera ekyapa si kyangu. Olw’okuteeka ebyapa ku mutimbagano, kati omuntu asobola okumanya ebikwata ku kyapa nga yeeyambisa essimu oba
kompyuta”, Kakooza bw’agamba.
Enkola eno ekendeezezza ebikolwa by’obufere, okulambulula eby’empeereza era
n’abantu bamanya mu bwangu ebikwata ku ttaka. Uganda ekyalina okusoomoozebwa mu bya tekinologiya kuba n’ensi nnyingi ezaakula zeeyambisa byuma bya ‘satellite’
okumanya n’okutangira abeesenza ku ttaka. Kyokka singa eby’okupunta byongerwa ssente ne Uganda esobola okutuukawo.
ENKOLA EZ’OMUTINDO ZEEYONGEDDE
Enkola ez’omulembe okuli; Artificial Intelligence (AI) ne Machine Learning (ML) ziyambye okutereeza eby’okupunta. Ebintu nga ‘drone’ ne ‘Automated mapping systems’ ziyambye okukendeeza obudde bw’okukuhhaanyizaamu ebintu ebyetaagisa.
Kino kyakendeeza ne ku bungi bw’abantu abaapuntanga. Katim omuntu omu amala kasita abeera n’ebyuma. Wabula kino kijjirako n’okusoomoozebwa era abapunta kibeetaagisa okusoma ennyo okusobola okutuukana n’embeera.
Obubbi bw’oku mutimbagano mu kupunta okw’omulembe Kakooza agamba nti, ensi
gy’ekomye okwettanira tekinologiya ow’omulembe n’ababbi abamubbirako gye bakomye okweyongera.
Olw’okuba enkola zonna zikolera ku yintaneeti kyangu abafere okugiyingiramu ne bafuna ebyama bye batateekeddwa kumanya n’oluusi okubikyusa ne muvaamu enkaayana n’abamu okuggyamu obwesige. Kyokka enkola ezo bwe ziba zinywezeddwa ebizibu ebirimu bisobola okwewalibwa ne kisobozesa kuteekateeka obulungi ebitundu.
Bwiino aweebwa abapunta singa yeeyambisibwa abategekera ebibuga, kisobola okuyamba okutangira omujjuzo n’ebitundu okukulira mu mbeera entegeke obulungi.
Ebiseera eby’omu maaso eby’omulimu gw’okupunta Kakooza agamba nti, omulimu
gw’okupunta bwe gunaayambibwako ekinologiya ow’omulembe, ne babeera n’ebyuma ebyomulembe, okwongera okutendeka abakugu n’amateeka amalungi kijja kunyweza
eby’enkozesa y’ettaka.
Okukwasaganya ebikwata ku ttaka n’okubigabana n’ababyetaaze Okusinziira ku Kakooza, enkola ya National Spatial Data Infrastructure (NSDI) eyambye nnyo okutereeza engeri y’okutambuzaamu ebikwata ku ttaka n’engeri y’okubigabana n’ababyetaaze. Kino kiyambye okumalawo enkaayana, enguzi n’obuguzi obw’obwerufu.
Okutendeka n’okwongera ku bukugu Kakooza agamba nti, minisitule erina kaweefube w’okulaba ng’abapunta bongera ku bukugu naddala mu by’embeera y’obutonde
n’okukozesa ebyuma. Embeera eno ya kwongera okuyamba okwewala ebibamba ebitera okugwaawo n’okukuuma embeera y’obudde. Minisitule ng’ekolagana ne
yunivasite ez’enjawulo etendese abapunta ne bongera obukugu okusinziira ku nkyukakyuka mu mbeera y’obudde. Enkola y’okuteeka ebyapa ku kompyuta eyambye
okutereeza empeereza.Jasper Kakooz ng’annyonnyola.
Abapunta ngabapima ettaka.ARktu Rlierav eMkoibsieinsa B eaknigjaatta abapunta, Aloysius Gonza (ku ddyo) ng’aliko by’annyonnyola abapunta.
Comments
No Comment