ABATUUZE b’e Kalangala ku byalo bina (4) ebyakubiddwa omuyaga ogumanyiddwa ng’ensoke, na buli kati bakyanyiga biwundu olw’okufiirizibwa kwe baatuuseeko, omuli n’obulamu bw’abantu.
Abantu bana be baakakasiddwa nti, be baafiiridde mu muyaga guno, ogwakuba ebyalo bina (4) ku Lwomukaaga okuli; Mwena, Kizzi, Kalangala ne Buggala.
Ekibangirizi Omwabadde Obuyumba Bw’abaserikale 32 Ensoke Bwe Yagoyezza.
Omuyaga guno ogwavudde ku nnyanja, gwakunse okumala eddakiika 30 ne guleka nga gusaanyizzaawo amayumba, emmere, emiti, kw’ossa bbaalakisi y’abaserikale abakolera ku Kalangala Central Police Station.
Okusinziira ku lipooti eyafulumiziddwa ekitongole ky’ebigwabitalaze ku disitulikiti y’e Kalangala, amayumba 248 gaasanyiziddwaawo, abantu 992 be baakoseddwa nga kuno kuliko abakyala 642 n’abasajja 350, nga bonna tebakyalina we beegeka luba mu kiseera kino.
Amasinzizo nago gaatikkuseeko obusolya, ebikondo ne waya z’amasannyalaze ne bigwa ku ttaka, ng’abatuuze ku byalo ebyakoseddwa bali mu kibululu mu kiseera kino. Ng’oggyeeko abaafudde, abantu abalala 28 okuli n’abaana bataano bali mu kunyiga biwundu.
Abaafudde
Ku baafudde kuliko; omuserikale wa Poliisi Detective Micheal Mujaasi, ng’ono akayumba k’abaserikale aka yunipooti omuyaga gwakatikudde mu bbanga ne kamukuba ng’agezaako okudduka okwetaasa, Allen Kobusingye yafiiridde mu ddwaaliro e Masaka, Geoffrey Ssekiwere ne Hassan Wasswa, nga bano enju mwe baabadde basula yabagwiiridde era ne bafiirawo
Omugenzi Hassan Wasswa
Abaabaddewo battottola
Jessica Nerima omu ku baserikale eyabaddewo agamba nti, yasoose kulaba mpewo eteri ya bulijjo nga mu kiseera kitono yagenze okwetegereza ng’obuyumba bwabwe butandise okusituka mu bbanga.
Omuserikale eyafudde n’omukazi Nerima agamba nti, akayumba mwe baabadde bwe kaatikkuse mu bbanga, baalajanye nti, “Ekintu kitutwala…. kitutwala mutuyambe” kyokka nga tebalina ngeri gye bayinza kubayambamu.
Hussein Ddungu, ng’ono yabadde akedde kugenda mu katale kutunda manda agamba nti, nga yaakatambula akabanga mpa we kaaga okuva awaka, yawulidde okuwuluguma okutali kwa bulijjo, yagenze okwetegereza ng’obudde bulinga obuzibye.
Bwe yalabye ng’amabaati gatikkuse mu bbanga, yataddeko emisinde ppaka awaka, era ekyamutaasizza kwe kuba ng’awaka we omuyaga tegwakosezzaawo.
Gavumenti etutte obuyambi
Minisita w’ebigwabitalaze, Lillian Aber yagenze e Kalangala n’agamba nti, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agenda kuwa buli ffamire eyafiiriddwa omuntu obukadde butaano ate abaalumiziddwa era nga bali mu malwaliro buli omu waakufuna akakadde kamu kabayambeko mu bujjanjabi.
Era yagambye nti, bagenda kuweereza emmere okuli akawunga n’ebijanjaalo nga bwe bateekateeka okugula amabaati eri abo enju zaabwe ezaatikkuse basobole okuzizzaawo.
Omubaka akiikirira essaza ly’e Bujumba awaagudde enjega eno, Mukasa Opondo yasabye gavumenti okuyambako abantu okuzzaawo amayumba gaabwe.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Masaka yagambye nti, baabakanye dda n’eddimu ery’okuzzaawo ennyumba z’abaserikale basobole okufuna we beegeka oluba.