Emmaali etabudde bamulekwa ba Hajji Katongole ne nnyaabwe

EBYOBUGAGGA by’omugenzi Hajji Moses Katongole eyali ssentebe wa UTODA birwanyizza aba famire, abaana ne bakuba nnyaabwe (nnamwandu) ne bamuyuliza engoye.

Emmaali etabudde bamulekwa ba Hajji Katongole ne nnyaabwe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Hajji Moses Katongole #UTODA

EBYOBUGAGGA by’omugenzi Hajji Moses Katongole eyali ssentebe wa UTODA birwanyizza aba famire, abaana ne bakuba nnyaabwe (nnamwandu) ne bamuyuliza engoye.

Hajati Aisha Namubiru Katongole nga ye nnamwandu omuto kigambibwa nti ye yalozezza ku bukambwe bwa batabani ba bba bwe baamufutizza agakonde n’okumuyisaamu ensambaggere, engoye ne baziyuza n’obutambaala bw’oku mutwe ne babumuggyako. Kuno baagasseeko okumulangira okufumbirwa Hajji nti yali abaza byanfuna.

Kati ensonga bazitwala w’avunaanyizibwa ku bintu by’abafu (Administrator general) addemu abayite asazeemu Abasiraamu bye baagaba kubanga wadde Hajji yafa emyaka esatu egiyise, amabanja ge yaleka tegasasulwanga.

Hajati Namubiru yategeezezza Bukedde nti, ebintu by’omufu byagabibwa mu Sharia wabula era kkooti n’emukkiriza okukuhhaanya ebintu by’abaana be kubanga be basinga obuto mu bamulekwa. Yagambye nti wabula asobeddwa kubanga buli kyabugagga ky’atuukako ng’abaana bakola olutalo nga bamugobaganya, byonna baabyefunza.

Mu February w’omwaka oguwedde, Namubiru yagugulana ne Mugerere James Ssempiga era nga gye byaggweera nga Mugerere ekitundu kye yali atutte bakimusuuzizza.

Yagambye nti ettaka lya ffaamu e Lwabyata mu Bugerere abaana baalipangisaako yiika 150. E Nakwero ettaka lya yiika emu baalitunda, ebintu ebirala okuli emmotoka, ente byonna baabibuzaawo.

Okulwanagana kwabaddewo ku Lwakutaano nga kwabadde ku ttaka ly’e Nakwero mu Wakiso. Ku ttaka lino omusika Arafat Mutagubya ne mukulu we Muhamood Katongole bassaako omukuumi Matiya Omara nga takkiriza muntu kulisaalimbirako.

Arafat Mutagubya (ku Kkono) Ne Muhamood Katongole.

Arafat Mutagubya (ku Kkono) Ne Muhamood Katongole.

Kigambibwa nti Namubiru yabadde atutte abapunta okusala ku ttaka lino ekitundu ky’abaana be n’abalala b’akuuma, wabula Omara olwamulabye n’akubira bakama be ne bajja ku ttaka, olutalo we lwatandikidde.

Namubiru yagguddewo omusango gw’okumukuba n’okumuyuliza engoye ku poliisi ya Canaan e Nakwero oguli ku fayiro nnamba SD12/11/01/2024.

OMUSIKA BY’AGAMBA

Omusika Mutagubya ne Muhamood Katongole ono nga ye mwana omukulu, baategeezezza nti ensonga bagenda kuzitwala ew’avunaanyizibwa ku bintu by’abafu.

Baagambye nti Namubiru ayagala nnyo ebyenfuna kubanga abakuza baasalawo ebintu ebimu bisigalewo kyokka baamusanze atutte abapunta nga yeesalirako ekitundu ku ttaka erisangibwa e Nakwero era we waavudde obuzibu.

Baamulumirizza okwekobaana n’omu ku bakuza ayitibwa Abubakhari Kaweesa (amanyiddwa nga Hajji A.K) ne badobonkanya ebintu by’omugenzi.