Emmaali y’omugenzi Katongole owa UTODA etabudde abaana ne bakuba nnamwandu kata bamwambule

Eby'obugagga by’omugenzi, Hajji Moses Katongole eyali ssentebe wa UTODA mu Kampala birwanyizza abafamire, abaana ne bakuba nnyabwe ne bamuyulizayuliza engoye.

Hajati Katongole n'omusajja, bamulekwa gwe baateekawo okukuuma.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#UTODA #Katongole #emmaali #nnamwandu #bamukuba

Bya Saul Wokulira            

Eby'obugagga by’omugenzi, Hajji Moses Katongole eyali ssentebe wa UTODA mu Kampala birwanyizza abafamire, abaana ne bakuba nnyabwe ne bamuyulizayuliza engoye.

Kati ensonga bazitwala w'avunaanyizibwa ku nsonga z'abafu (Administrator General)  asazeemu ebyo Abasiraamu bye baagaba kubanga wadde Hajji Katongole yafa emyaka esatu egiyise amabanja ge yaleka tegasasulwanga era omufu akyabanjibwa.

Hajati Namubiru Katongole Ng'alaga Olugoye Abaana Lwe Baamuyulizza.

Hajati Namubiru Katongole Ng'alaga Olugoye Abaana Lwe Baamuyulizza.

Hajati Aisha Namubiru Katongole, nga ye nnamwandu omuto ye yalozezza ku bukambwe bwa batabani ba bba bwe baamufutizza agakonde n’okumuyisaamu ensamba ggere, engoye ne baziyuza obutambaala bw’oku mutwe n’ebirala baabimwambudde kumpi kuyita bute.

Abaana nabo balangidde nnyabwe ono nti okufumbirwa Hajji Katongole yali abaza byanfuna.

 Hajati Namubiru Katongole agambye nti ebintu byagabibwa mu Sharia wabula era kooti n’emukkiriza okukung’anya ebintu by’abaana be kubanga bebasinga obuto mu Bamulekwa b’omugenzi  wabula buli ky’abugagga ky’atuukako nga abaana bakola olutalo nga bamugobaganya byonna baabyefunza.

Ettaka lya faamu e Lwabyata mu Bugerere nalyo nti abaana baalipangisaako yiika 150 eri abalimi, yiika emu e Nakwero baagitunda, ebirala ebitambula omuli ente n’emmotoka byonna baabibuzaawo.

 Waliwo omusajja Matiya Omara ono omusika Mutagubya ne mukulu we gwe baateekawo nga kanyama ku ttaka ly’e Nakwero okugoba aba famire abagendayo abalemye nga akuba essimu era ono katono bamulyemu amaaso.

Hajati Namubiru alumiriza batabani ba hajji Katongole okuli omusika Arafat Mutagubya ne Muhamood Katongole okukozesa ekifuba ne bawamba emmaali eyagabanyizibwa Bamulekwa abato era nga olutalo luno lwabadde ku ttaka erya decimal 55 erisangibwa e Nakwero mu disitulikiti y’e Wakiso batabani lye baagala okwezza era yaloopye omusago gw’okumukuba ku poliisi ya Canan e Nakwero oguli ku fayiro nnamba SD 12/11/01/2024.

Agamba nti baalya olugaayu mu Bamaseeka ab’e Kibuli abaagabanya ebintu ne batuuka n’okubayita abapakasi ba kitaabwe.

Arafat Mutagubya Ne Muhamood Katongole Ku Ddyo Nnamwandu B'alumiriza Okumukuba.

Arafat Mutagubya Ne Muhamood Katongole Ku Ddyo Nnamwandu B'alumiriza Okumukuba.

Nyina wa nnamwandu Aisha Katongole nga ye hajati Sarah Ddungu agambye nti okuva muwala we ne bazzukulu be lwe baagabagabana ebintu abaana abakulu baabalemesa okubituukamu wabula yebazizza jjajja w’obusiraamu Omulangira hajj Khasimu Nakibinge ne Baaseeka okuva e Kibuli olw’okuyimirira ne bagaba ebintu wakati mu baana b’omugenzi okubavvoola.

Hajati Ddungu yebazizza jjajja w’Obusiraamu Omulangira Khasimu Nakibinge kubanga ssi teyayimirira okulwanirira abaana abato omugenzi hajj Katongole beyaleka kubanga ssinga ssi ye baali babammye ku mmaali ya kitaabwe.

Twogeddeko n’Omusika wa Hajj Katongole nga ye Arafat Mutagubya ne Muhamood Katongole ono nga ye mwana omukulu owa hajj Katongole ku lukomo ne bagamba nti ensonga bagenda wa Administrator general biddemu bigabwe.

Bagambye nti nyabwe ayagala nnyo eby’enfuna kubanga abakuza baasalawo ebintu ebimu bizigalewo kyokka baamusanze agenze atutte Abapunta nga yesalirako ekitundu ku ttaka erisangibwa e Nakwero wewavudde obuzibu.

Baamulumirizza okwekobaana n’omu ku bakuza ne badobonkanya ebintu by’omugenzi.