Ekizimbe ekisinga obuwanvu mu Kampala okuli ya Pearl of Africa Hotel kitundibwa ku nnyondo lwa bbanja

EKIZIMBE ekisinga obuwanvu mu Kampala okuli wooteeri ya Pearl of Africa Hotel kitundibwa ku nnyondo oluvannyuma lwa nnannyini kyo amabanja okumutuuka mu bulago.

Ekizimbe ekisinga obuwanvu mu Kampala okuli ya Pearl of Africa Hotel kitundibwa ku nnyondo lwa bbanja
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Pearl of Africa Hotel #AYA #M/S MMAKS Advocates #AYA Investiments (U) Limited #Development Corperation Of South Africa

EKIZIMBE ekisinga obuwanvu mu Kampala okuli wooteeri ya Pearl of Africa Hotel kitundibwa ku nnyondo oluvannyuma lwa nnannyini kyo amabanja okumutuuka mu bulago.

Ekizimbe kino galikwoleka kisangibwa Nakasero, nga kiriko emyaliiro 23. Kyalangiddwa mu mawulire nga kigenda kutundibwa ku nnyondo mu bbanga lya nnaku 30 zokka, okuva ekirango we kyafulumye eggulo ku Mmande nga September 25, 2023, okuggyako nga nnyinikyo asasudde ssente ezimubanjibwa.

Bannannyini wooteeri eno, bali wansi wa kkampuni ya AYA Investiments (U) Limited, eya Mohammed Hamid, nga balina ne bizinensi endala ze baddukanya mu by’obusuubuzi, okukola ebyokulya, okusima ebyobugagga eby’omu ttaka, okusaabaza abantu, okuyamba abaana abatalina mwasirizi n’ebirala.

Abaawola AYA bava South Africa, mu kitongole kya Development Corperation Of South Africa, era bannamateeka baabwe aba M/S MMAKS Advocates ne ENSafrica Advocates bagamba nti wooteeri ya AYA bagenda kugitunda nga October 26, 2023 era abagyegwanyiza bayitibwa okugendayo babalambuze.

Pearl of Africa Hotel eri ku nnyondo kati, etudde ku bugazi bwa yiika 14, ng’erimu ebisenge ebisulwamu 296, ebirabo by’emmere eby’amaanyi bibiri, ebbaala ssatu, ebisenge omukolerwa enkiiko mwenda, ebisenge 37 mw’osobola okwegazaanyiza ne famire yo, n’ebintu ebirala amatiribona bingi.

EBBANJA ERIBANJIBWA AYA

Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, AYA yayingira mu ndagaano n’ekitongole kya IDC okuva e South Africa, wakati wa 2007 ne 2017 nga yeewola ssente okuvujjirira omulimu gw’okuzimba wooteeri eno.

Ebiwandiiko biraga nga omugatte AYA baamuwola obuwumbi 305 mu za Uganda. Omwaka 2017 we gwatuukira, ebbanja lyali likuze nga lituuse ku buwumbi 444.

Hamid yawanjagidde Pulezidenti Museveni ne gavumenti bamudduukirire wooteeri ye ereme kugenda mu ngeri ey’okusaaga ate ng’agitaddemu ssente mpitirivu okugituusa awo. Ettaka okutudde woteeri eno lyali lya UBC ne liweebwa AYA ezimbeko wooteeri galikwoleka nga yali yaakusulamu abagenyi ba CHOGM mu 2007.

Wabula engeri ettaka lino gye lyagendamu, yaleka ebibuuzo bingi mu Bannayuganda.