Ekiwangaaza obufumbo kutambulira wamu - Mayiga

30th December 2022

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ekiwangaaza obufumbo be baagalana okusalawo okutambulira awamu wadde waliwo ebibawula mu bulamu.

Ekiwangaaza obufumbo kutambulira wamu - Mayiga
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire

Mayiga ayongedde n'ategeeza nti singa abafumbo baalinga basalawo kufumbiriganwa naabo bwebafananya embeera z'obulamu,Obufumbo bwandibaddenga tebunyuma,buboowa wadde okubeeramu ekippya.

Katikkiro Mayiga ng'akwasa abagole ebirabo.

Katikkiro Mayiga ng'akwasa abagole ebirabo.

Okwogera bino asinzidde ku Kanisa y'Omutukuvu Yokaana e Kawuku-Bbunga mu ggombolola Mutuba III Makindye mu Kampala- Kyadondo bwabadde yeetabye ku mbaga y'abaagalana James Kkulubya Kitamirike ne Tracy Wanjira Mutugi n'agamba nti ebyo ebyawukana mu bafumbo,byebibayamba okugenda mu maaso.

"Ekiwangaaza Obufumbo si lwakuba abaagalana bombi bafanaganya buli mbeera wabula obuwanguzi butuukibwako abafumbo bwebatwala mu maaso ebyo ebibaawula," Mayiga bwagambye.

Ven. Can. BK Buwembo ng'abuulira.

Ven. Can. BK Buwembo ng'abuulira.

Kkulubya nga Mukugu mu byuma Kalimagezi e South Africa Mutabani wa Joseph Kitamirike Mukwano gwa Mayiga bwebasomera e St. Mary's College Kisubi ate ye Wanjira nga mukubi wa pulani z'ebibuga e South Africa,Muwala wa Dr. Peter ne Ruth Mutugi ababeera e Johannesburg mu South Africa kyokka nga bano nzalwa z'e Kirinyaga- Kenya.

Olw'okuba bano bava mu buwangwa obw'enjawulo,Mayiga abasabye buli omu okufuba okuyiga ebikwata ku buwangwa bw'Abaganda n'Abakikuyu era ssente bwezibeerawo balambule amawanga gano kisobozese buli omu okumanya ekiri ewamunne.

Mayiga era ayongedde n'abulira abantu nti obufumbo kubeera kukola mukago ng'omukago guno buli omu agabana kyenkanyi ebirungi n'okufiirwa okubeeramu n'olwekyo nga kikakata ku buli omu okulaba nga gunywezebwa.

Bakkulubya nga bamaze okugattibwa.

Bakkulubya nga bamaze okugattibwa.

Abagole bano bagatiddwa Ssabaddinkoni w'e Nateete Ven. Can. Godfrey BK Buwembo ng'ono asabye Kkulubya okufangayo okuwuliriza Wanjira byabeera ayagala okumugamba era n'abakuutira okukola ennyo okuyimirizaawo amaka gaabwe ate n'okuwagira emirimu gy'ekanisa.

Can. Buwembo era yebazizza abagole bano olw'okuvaayo mu lwaatu okwetwalira obufumbo obutukuvu nga Katonda bweyabutdekateeka.

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.