EKITONGOLE ekiramuzi kitegeezezza nti okuwummula kwa Ssaabalamuzi wa Uganda tekigenda kutaataaganya nteekateeka ez'okuwulira omusango omu ku baavuganyizza ku bwapulezidenti gw’ateekateeka okuwaaba ng'awakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni.
Kiddiridde Robert Kasibante owa National Peasants Party (NPP) eyakutte ekifo ekyomukaaga mu kalulu k'Obwapulezidenti okussaayo notisi mu kkooti nga bw'agenda okuwaaba omusango ng'awakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni.
Omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Ereemye James Mawanda yagambye nti, ssinga omusango guno gunassibwayo, kkooti ey'oku ntikko nneetegefu okuguwozesa n'okugusalala mu budde. Yannyonnyodde nti okuwummula kwa Ssaabalamuzi Alphose Owinny Dollo tekugenda kukosa musango kubanga waliwo akola mu kifo kya Ssaabalamuzi.
Munnamateeka Friday Roberts Kagoro n’agamba nti kituufu omumyuka wa Ssaabalamuzi asobola okuwulira omusango gwonna mu kkooti Ensukkulumu kyokka nategeeza nti essaawa yona bayinza okulonda Ssaabalamuzi wa Uganda.
Mu Kiseera kino, obuyinza bwa ofiisi ya Ssaabalamuzi bwakwasiddwa omumyuka wa Ssaabalamuzi Dr. Fravian Zeija nga kati y’akola nga Ssaabalamuzi wa Uganda.
Mu notisi ya Kasibante, agenda kuwawaabira akakiiko k’ebyokulonda, Ssaabawolereza wa gavumenti ne Museveni ng’awakanya ebyava mu kulonda kwa Pulezidenti. Awakanya Museveni okulangirirwa ng’omuwanguzi ku bwa Pulezidenti n’agamba nti byonna ebyaliwo mu kiseera ky’okunoonya akalulu, okulonda n’okulangirira omuwanguzi, tebyagoberera mateeka ekyakosa ebyo ebyava mu kulonda.
Era agamba nti Museveni oba abantu be baakola ebikolwa bingi ebikyamu ebyattattana amateeka agagobererwa mu kulonda, kale ayagala obuwanguzi bwe busazibwemu n’okulonda kuddibwemu. Agamba nti, akakiiko k’ebyokulonda tekaagoberera mateeka g’ebyokulonda kaatambulira ku ntoli za Museveni, Sipiika Annet Anita Among n’abakulembeze ba NRM abalala.
‘BYABAKAMA ABADDE TEYEETENGEREDDE’
Yalumirizza nti Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Byabakama abadde teyeetengeredde ng'atambulira ku biragiro ebyayisibwa abeebyokwerinda okuli n’eky’omuduumizi w’amagye ga UPDF Muhoozi Kainerugaba eyayisa ekiragiro ky’abalonzi okuva mu bifo we balondera nga bamaze okulonda ate ng’etteeka libakkiriza okubeera mmita 20 okuva we balondera, ekitangira emivuyo.
Kasibante agamba nti ye ne banne bwe bali mu lwokaano luno baategeeza akakiiko k’ebyokulonda ku nsonga zino kyokka tewali kyakolebwawo. Agattako nti, baagaanibwa n’okukuba enkuhhaana mu bisaawe ebimu.
Era alumiriza Museveni okulagira abeebyokwerinda okutulugunya abantu kubanga ye muduumizi w’oku ntikko ow’ebitongole by’okwerinda era y’avunaanyizibwa ku bikolwa byabwe. N’agamba nti kino baakikola okuteekawo okutya mu bavuganya n’abalonzi.
Mu musango gwe guno, Kasibante yeemulugunya ku bibinja by’abakozi bantu b’effujjo okuva mu NRM nga byakulemberwa Majambere.
‘EMMOTOKA ZA GAVUMENTI ZAASOMBERA MUSEVENI ABANTU’
Yeemulugunyizkza ku mmotoka za gavumenti ezaakozesebwa okusomba abantu n’abayizi b’amasomero nga babatwala mu nkuhhaana za Museveni. Era yeemulugunya ku buuma obwecanga mu kulonda n’agamba nti Minisita w’ekitongole ekiramuzi n’ensonga za Ssemateeka yakkiriza okubukozesa nga teyeebuuzizza ku kakiiko k’ebyokulonda n’akakiiko k’ebyokulonda okulemwa okuzza obuggya enkalala z’abalonzi.
Era alumiriza akakiiko k’ebyokulonda okulemwa okuteeka enkalala z’abalonzi mu lupapula lwa Gazette oba mu lupapula lwonna mu nnaku 60 ng’okulonda tekunnabaawo.
Agattako nti, mu December, 25 akakiiko k’ebyokulonda kaateekawo ebifo ebironderwamu 15,256 ebyali tebirangiddwa nga wano.
‘OKUBALA OBULULU N’OKUBUGATTA TEKWALI KWERUFU’
Agamba nti, okubala obululu n’okubugatta nakwo tekwalimu bwerufu naddala okuva we balondera okugenda ku disitulikiti ne ku kifo eky’awamu we bwagattirwa. Agamba nti bo tebakkirizibwa kakiiko kulaba ngeri gye bwagattibwamu era n’empapula okwali ebivudde mu kulonda tezaaliko mikono gya ba ajenti!
Bw’atyo nga yeesigama ku nsonga ezo n’endala omuli n’enguzi gy’agamba eyagabibwa Museveni ne Moses Ssali (Bebe Cool), ayagala okulonda kuno kusazibwemu.