Ekiragiro kya banka enkulu ku mobayiro mmane kitandise okukola

Apr 21, 2024

EKIRAGIRO kya Bbanka Enkulu eya Uganda ku basindika ssente eziwera akakadde kamu n’okusoba nga bayita ku mobayiro mmane okusooka okuwaayo densite, kitandise okukola.

Abantu abaggyayo Pn’ okuweereza ssente ku kayumba ka mobayiro mmane

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

EKIRAGIRO kya Bbanka Enkulu eya Uganda ku basindika ssente eziwera akakadde kamu n’okusoba nga bayita ku mobayiro mmane okusooka okuwaayo densite, kitandise okukola.
Kyatandise okukola eggulo ku Lwokutaano nga April 19, 2024, nga kati bw’oba osindika oba ng’oggyayo akakadde kamu n’okudda waggulu, olina okusooka
okuwaayo densite y’eggwanga, agenti n’akakasa nti, amannya agali ku layini yo ey’essimu geego agali ku densite yo.
Kitegeeza nti, layini yo bw’eba eri mu mannya ga muntu mulala, togenda kusobola kusindika, oba okuggyayo ssente eziwera akakadde n’okusoba, okuggyako ng’okozesezza omuntu oyo nnannyini densite gye wakozesa okuwandiisa layini yo. Dr. Bazinzi Natamba, amyuka dayirekita avunaanyizibwa ku by’amawulire mu Bbanka Enkulu, yagambye nti, ekiragiro kino kigendereddwaamu okulwanyisa obufere n’obubbi obubadde
bususse ku mobayiro mmane, ng’ababbi bakolagana butereevu ne ba agenti okufera n’okubbaabantu.
Obuyinza obuteekawo ebiragiro nga bino, Bazinzi yagambye nti, Bbanka Enkulu ebuggya mu tteeka lya National Payments Systems Act, 2020, ennyingo eya 55, kw’ossa
ebiragiro ebiruhhamya entambuza ya ssente ebya National Payment Systems (Agents) Regulations,2021.
Okusinziira ku tteeka lino, agenti yenna ataagondere kiragiro kino, singa gumusinga waakusasula engassi ya bukadde bubiri. Bazinzi yannyonnyodde nti, ekireetesezza ekiragiro kino, kwe kulwanyisa ababbi ababadd  bakola olukwesikwesi ne bawandiisa
layini mu mannya g’abantu abalala, ne batandika okusindikako ssente ze baba babbye, nga bwe baziggyayo. Poliisi n’ekitongole ekiruhhamya eby’empuliziganya ekya UCC,
babadde basanga akaseera akazibu okulondoola ababbi bano, kubanga babadde bakwata abo abeesanga ng’amannya gaabwe ge gali ku layini z’essimu ezikozesebwa mu bubbi, naye nga tebalina kakwate ku bufere n’obubbi obuba bukoleddwa.
Abantu abatalina densite za ggwanga, nga zaababulako naye nga layini z’essimu zaabwe baaziwandiisa mu mannya gaabwe, Bazinzi yagambye nti, ekiragiro kino kibakkiriza okukozesa ebiwandiiko ebirala okugeza ppaasipooti, densite y’abanoonyi b’obubudamo, oba densite y’abagwiira (Alien ID). Omwogezi wa kkampuni ya Airtel, David Birungi, yagambye nti, bo nga aba Airtel ekiragiro kino baatandikiddewo okukiteeka mu nkola, era yasabye bakasitooma baabwe okukigondera, kubanga kizze kubataasa ku bubbi obubadde bususse.
Birungi era yagambye nti, teweetaaga kugenda na koppi  , kubanga agenti ajja kuba n’obusobozi okukakasa densite yo, era awandiike mu kitabo ebikukwatako. Bazinzi yagambye nti, tewali muntu gwe bagenda kuttira ku liiso, kubanga kyangu nnyo okuwandiisa layini y’essimu mu mannya go, ate era kyangu okufuna densinte eri abo abatazirina, ng’abantu abagaana okwewandiisa balabika balina ebigendererwa ebitali bituufu era bano be baagala okumalawo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});