Abasawo b’ekinnansi babataddeko omusolo ne batabuka

May 05, 2024

ABASAWO b’ekinnansi basattira lwa Gavumenti z’ebitundu ezibataddeko omusolo ku masabo mu kaweefube w’okugaziya ennyingiza. Omusolo ku masabo gutandikidde mudisitulikiti y’e Masaka, Lwengo, Kyotera, Nakasongola ne Luweero.

Maama Fiina n’abasawo b’ekinnansi b’akulembera ku mukolo gwabwe ogwabadde e Wakiso.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

ABASAWO b’ekinnansi basattira lwa Gavumenti z’ebitundu ezibataddeko omusolo ku masabo mu kaweefube w’okugaziya ennyingiza. Omusolo ku masabo gutandikidde mu
disitulikiti y’e Masaka, Lwengo, Kyotera, Nakasongola ne Luweero.

Kyokka ne disitulikiti endala zitegeka okutandika okugusolooza mu mwaka gw’ebyensimbi ogutandika mu July, 2024.

Abasolooza bagamba nti abasawo bano nabo balina ennyingiza era nga basuubira obuweereza okuva mu Gavumenti nga tewali ngeri gye bayinza kubataliza. Ssentebe wa disitulikiti y’e Kassanda, Fred Kasirye Zimula era akulira bassentebe ba disitulikiti mu Buganda yagambye nti etteeka lya Local Government libawa obuyinza okufuna ennyingiza ku mulimu gwonna oguvaamu ssente.
“Lwaki tusasuza aba bodaboda ‘sticker’ ate abasawo b’ekinnansi abalina ennyingiza ne tubaleka.
Etteeka litugamba okutegeeza minisitule y’ebyensimbi ebintu bye tuggyamu ennyingiza buli mwaka. Kyokka disitulikiti ezimu ezirina abasawo abakikola mu bubba,” Zimula bwe yagambye.
LUWEERO: E Luweero, abasawo b’ekinnansi bakkaanyizza n’abakulira okugereka omusolo mu disitulikiti basasule 30,000/- buli mwaka buli ssabo. Kyokka waasoose kubaawo kusika muguwa ng’abasawo bawakanya 50,000/- ezaasoose okubagerekebwa.
Olukiiko olwatudde ku kitebe ky’abasawo e Nakkazi mu Luweero town council gye buvuddeko, abasawo baabadde basabye baawulwemu wakati w’abakwata amayembe n’ebiteega be bagamba nti bafuna okusinga abagaba eddagala ly’obuganzi. Wadde kyayisiddwa kyokka abasawo abamu baasigadde bakalambidde nti tebajja kuguwa era beetegefu okwambalagana n’abanaalinnya mu masabo gaabwe. Bagamba eddagala bagaba lya bwereere nga bajjajja bwe baba babalung’amizza.
MASAKA: Kaboggoza Kiwanuka omwogezi w’enzikiriza y’obuwangwa n’ennono mu ggwanga yagambye nti omusolo ku masabo gwatandikira Masaka nga babaggyako 200,000/- buli mwaka kyokka ne basaba ssente za myaka esatu emabega. “Siwulirangako nti Palamenti eyisizza omusolo ku masabo. Balinga abatuvunaana lubaale w’ekika okutukwata nga naffe tetweyagalira. Bwe banaakozesa ekifuba ne bajja mu masabo n’emmundu, beekanga enjuki zibalumye ne batuvunaana” Kaboggoza bwe
yagambye. Meeya we kibuga Masaka, Florence Namayanja yagambye nti omusolo guno gwateekebwawo divizoni basobole okwawula abafere ku batuufu. Olw’okuba obusawo nagwo mulimu oguyingiza ssente takirinaako buzibu bwe basasula omusolo. Kyokka ssente bwe zibeera ennyingi basobol  okuteeseganya ne bakkaanya ku muwendo ogusaanidde. Wabula omumyuka wa RCC owa Kimaanya-Kabonera, Ahmed Kateregga Musaazi yalabudde abasolooza omusolo guno n’agamba nti baaguyimiriza nga ofiisi y’omubaka wa Pulezidenti. Kino bakyesigamya mu kubeera nti omusolo guno Palamenti teguyisangako ate nga y’erina obuvunaanyizibwa buno.
E LWENGO: nayo kyategeezeddwa nti abasawo babasolozaako emitwalo 10 buli mwaka, wadde ng’okusooka disitulikiti yali eyagala kuzifuula za buli mwezi. Hakim Walukagga amanyiddwa nga ‘Kkuboggazi’ ow’e Nabigasa-Kaliisizo yagambye nti basooke kubawa satifikeeti zibatongoza bwe baba baagala okubaggyako omusolo kuba mu kiseera kino obujulizi bw’amayembe tebutwalibwa mu kkooti.
MAAMA FIINA MUNYIIVU
Maama Fiina (Sofia Namutebi) akulira abasawo abeegattira mu kibiina kya Uganda n’eddagala n’Obuwangwa yawakanyizza omusolo n’agamba nti omuntu okuba omusawo bajjajja be babeera bamulagidde ayambe abantu. Teguba mulimu mutongole era y’ensonga lwaki bagukolera mmanju. “Ogerekera otya omuntu gw’otomanyi nnyingiza kuba kizibu okumanya ssente empewo ze zisala. Amayembe toyinza kugawa muntu ng’omusingo era abalowooza okukwata abasawo boolekedde okufuna obuzibu bw’amayembe okubeekolerako,” Maama Fiina bwe yagambye. Maama Fiina yalaze obwennyamivu olwa poliisi z’omu byalo ezikola ebikwekweto ku basawo nga babasaba omusolo ekyavaako omusawo omu okumenyeka okugulu e Nakasongola gye buvuddeko ng’adduka.
MUKONO: Amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Asuman Muwumuza yagambye nti e tebannatandika naye nga takirabamu buzibu kuba kiyambam gavumentiokwongera ku nnyingiza. Yasabye wabeewo okulung’amya ku bika by’abantu abateekeddwa okusasula kuba mulimu abalina amasabo ga ffamire n’abalina aga bizinensi. Era bamanye n’abalina okugukuhhaanya kuba kyangu eggombolola, disitulikiti ne URA bonna okugusaba.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});