Obulabe obuva mu kukozesa ebiragalalagala

May 05, 2024

Grace Bikumbi, omusawo mu ddwaaliro e Butabika (Clinical Psychologist/ Addiction and Mental Health Specialist), ow’ekifo ekibudaabuda abantu abakozesa ebiragalalagala ekya Kampala Youth Recovery Foundation (KYRF) agamba nti:

Dr. Grace Bikumbi.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

Grace Bikumbi, omusawo mu ddwaaliro e Butabika (Clinical Psychologist/ Addiction and Mental Health Specialist), ow’ekifo ekibudaabuda abantu abakozesa ebiragalalagala ekya Kampala Youth Recovery Foundation (KYRF) agamba nti:
l Okukozesa ebiragalalagala mu bantu ky’ekintu ekikyasinze obubi eri obulamu, kuba
endwadde nnyingi zeekuusa ku kukozesa ebiragalalagala.
l Kireetera abayizi okuseerera n’okuseebengerera mu misomo gyabwe, n’osanga
omuyizi eyali asinga banne nga kati y’akwebera, ng’obwongo bwakyusibwa ebiragalalagala, abamu n’amasomero bagavaamu nga tebakyasobolakugumiikiriza.
l Omuntu akozesezza ebiragalalagala, bangi bafuna obulwadde bw’okwerabira
n’atuuka nga tasobola kujjukira kintu kumala bbangaddene olw’okuba yakozesa ebiragalalagala.
l Obulwadde bw’omutwe, bangi naddala abavubuka abakozesa ebiragalalagala bubatawaanya, abamu atandika okuwulira amaloboozi ag’enjawulo n’okulaba ebitategeerekeka. Beebo b’osanga ng’alinga omulalu, ayogera yekka bw’aseka, naye
ng’ebiragalalagala byacankalanya obwongo, ate abamu batabukira ddala emitwe ne bataddamu kutegeera.
l Bikyusa endowooza y’obwongo, kizibu omuntu okukozesa ebiragalalagala
n’asigala ng’ategeera bulungi. Bangi bakyusa embeera n’entegeera y’obwongo n’ekyuka, beebo b’osanga nga mukambwe ate abamu nga musirifu tanyega
ate nga si bwe yali.
l Ebiragalalagala bireetera omuntu okuwulira amaanyi mangi ag’enjawulo, n’alowooza
nti, asobola okukola n’ekintu ekitasoboka ye ng’alowooza asobola olw’ebiragala
by’akozesezza. Binaabulako ensonyi ku maaso nga buli kimu alaba akisobola, ky’ova olaba abakola ebikolobero basooka kunywa biragalalagala ebyo. N’osanga oli ng’akutte omwana oba omukazi, abamu bakwata  ebisolo, okubba n’okukola
eby’obulabe bingi. l Empisa zoonooneka, kizibu okutandika ebiragalalagala n’osigaza obuntubulamu, bisooka ne bikuggyako okutya n’ensonyi nga ne mu bantu osobola okweyambula, nga tolina ky’otya

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});