ABASUUBUZI abatunda sipeeya wa mmotoka ewa Kisekka basattidde poliisi bw’ezinzeeko amaduuka ng’enoonya abatunda ebintu ebibiddwa ku mmotoka ababbi bye babatwalira n’ekwata abantu 18 .

Abaserikale nga bakebera amaduuka ewa Kisekka
Ekikwekweto kino kyakoleddwa ku Lwokusatu abaserikale okuva ku poliisi ya Jinja Road abaakulembeddwa omuduumuzi waayo SP Sulait Kitaka bwe baakwataganye n’aba CPS ne bagenda ewa Kisekka ku bizimbe 3 mwe bazudde amaduuka ababba ebintu ku mmotoka z’abantu gye babitwala okubitunda n’okubikyusa ne biddamu okutundibwa nga sipeeya.

Omuserikale ng'aliko by'abuuza nannyini dduuka erimu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala némiriraano Rachael Kawala yagambye nti okukola ekikwekweto kyaddiridde okubaako abavubuka abaakwatiddwa nga beenyigira mu kubba ebintu mu mmotoka ababuulidde abaserikale nti baliko amaduuka gye babitunda ewa Kisekka ne basindika abakessi ne bagazuula.

Abamu ku baayooleddwa
Yagambye nti abaserikale baasookedde mu kizimbe kya Raven n’ekya Life Arcade gye baasanze sidemirror , amataala, Grills nga kano kwe kubeera laama za mmotoka n’ebintu ebirala nga bino byonna batikkiddwa ku mmotoka n’ebitwalibwa.
Yategeezezza nti era waliwo amaduuka ge baazudde ng’eno ababbi gye batwala ebintu ebibabituusa n’okuddamu okubifuuyira ne biteekebwa mu maduuka n’ebitundibwa nga waliwo n’abakwatiddwa nga batutteyo amataala goozebwe n’okusiimuulako nnamba puleeti.
Yagambye nti ababbi baateega mmotoka naddala mu bulippagano n’ebitaala naddala ku Jinja Road ne zisimbibwa mu paakingi oluvannyuma ne batwalira ab’amaduuka ewa Kisekka ne babibaguza nga kati nabo batandise okukwatibwa.