Amawulire

Ekyabadde mu musango gw'Okello e Ggaba

OMULAMUZI Alice Komuhangi Khaukha yatandise okuwulira emisango gy'obutemu egivunaanibwa omuvubuka Christopher Okello Onyum mu kkooti etuula ku ssomero omuwawaabirwa gy'agambibwa nti yaddiza emisango gino.

Abaserikale b'amakomera nga batuusa Okello ku kkooti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMULAMUZI Alice Komuhangi Khaukha yatandise okuwulira emisango gy'obutemu egivunaanibwa omuvubuka Christopher Okello Onyum mu kkooti etuula ku ssomero omuwawaabirwa gy'agambibwa nti yaddiza emisango gino.
Okello 39, avunaanibwa okutta abaana ng’abasala ebiso bwe yalumba ekifo awaakumirwa abaana ekya Ggaba Early Childhood Development Center bwe nga yeefudde azze okusabira omwana gw’alabirira ekifo.
Oludda oluwaabi nga lukulemberwa Jonathan Muwaganya ne Anna Kiiza baatandise okuleeta abajulizi. Okello awolerezebwa bannamateeka Richard Kumbuga ne Sarah Awelo nga bano baamuweereddwa Gavumenti nga bw'eri enkola ku bawawaabirwa mu misango gya nnaggomola nga tebalina bapuliida ba bwannannyini.
Obujulizi bw’abazadde olwaweddeyo, Muwaganya n'aleeta omuwala eyali alabirira abaana mu kifo kino kyokka ebyaliwo abinyumya nga lutabaalo.
Phoebe Namutebi (34) yattottodde engeri Okello gye yamussaako ekiso ng’amanyi agenda kumutta kyokka n'amuvaako n'addira amabujje n'agasanjaga.
Mu bujulizi bwa Namutebi obwaleese buli omu nga yeebuuza Okello kye yagenderera yagambye nti; Ng'amaze okumuwa (Okello) lisiiti, yafuluma. Bwe yagenda ku geeti n'amuvaako ng'alowooza nti afulumye. Bwe yakutama okuggulawo dduloowa okuzzaayo lisiiti. Yatunula mu ddirisa alabe ekiri wabweru.
OKELLO YANTEEKAKO EKISO ATE N'ADDIRA ABAANA NABASANJAGA
N'addamu okulaba Okello ng'akutamye wansi. Awo waaliwo omwana nga naye amukutamyeko. Mu bwongo, nasooka kulowooza nti amukuba, lisiiti nagisuula wansi ne nziruka we yali.
Natuuka mmubuuza abaana baffe okuba baaki? Naye yali tannanziramu ne ndaba Keisha Agenorworth ng’ali wansi mu kitaba ky’omusaayi. Omwami yayimuka ng’akutte ekiso mu ngalo.
Omwami oyo yalina sipiidi. Yabakirawo omwana omulala, nagenda okulaba nga naye amuteeka wansi ne mmanya naye agenda kumusala. Mu bwangu nakwata akagaali abaana bwe bavuga wabweru ne nkamukasukira. Yasooka n'aleka omwana gweyali akutte n'angoba. Nadduka nga bwe ndeekana naye natuuka ne ngwa wansi. Yantuukako n'ekiso mu ngalo. Bwe yalaba ngudde, n'andekawo n'adda awaali abaana, bwe nasituka nasanga owookubiri ng'amumalirizza, nakwata akagaali akalala ne nziramu okamukasukira olwo yali agoba omwana owookusatu.
Embeera eno yaliwo ddakiika ntono nnyo. Munnange omu yali alongoosa we baliiridde, Mrs Odong yali mu ofiisi ng'alina lipooti z'akola, ng’omulala atutte baana kweyamba kuba baali bava kulya. Bwe bamala okulya, tubatwala okweyamba n'okulongoosa ppoti bwe bafuluma era yali abatutte mmanju n'okulongoosa ppoti, omufumbi yali mu ffumbiro ng'afumba. Eyali alongoosa ne Mrs. Odong baavaayo naye tebaasooka kumanya kigenda maaso kuba bano baali wansi.
Bino Namutebi yabyogedde ng'abamu ku bazadde n'abantu abagoberera omusango bafeesa, ng'abalala beesimuula maaso ng'ate abalala banyeenya emitwe okwewuunya obuvumu Namutebi bwe yakozesa okutaasa abaana ku Okello eyali aswakidde nga empologoma okubasaanyaawo.
Namutebi yayongeddeko nti, “Namukuba akagaali ng'agenda ku mwana owookusatu era yangoba kyokka olw'okutya kwe nnalimu nagwa emirundi esatu. Bwe nagwa ogwokusatu, yantuukako n'agalula akambe. Engeri gye nalaba ng'asaze bali, nazibiriza nga mmanyi nange agenda kunsala. Naye yandeka n'addayo mu baana. Nalwawo wansi engeri gye nali mu ntiisa, nagenda okusitakwo ng'ali ku mwana eyasembayo. Omwana gwe yasembayo okusala yali Ryan Odeke era bannange enduulu ze baali bakubye zaali zireese abantu okutudduulira.
Obwedda Namutebi abuulira kkooti ebyaliwo mu ngeri ya firimu nga Okello akotese omutwe awuliriza nga bw'omutuunulira ekyangu okulowooza nti yeebase.
Omusango guddamu leero ng'abajulizi abalala abasuubirwa kuliko Cyrus Bukenya eyakwata Okello, Bashir, Timothy ne Moses abadduukira mu kaseera ako.
EBYASOOSE OKUBAAWO
Muwaganya eyakulembeddemu oludda oluwaabi yagambye kkooti nti, “Oweekitiibwa omulamuzi tuzze mu kkooti omuwawaabirwa okusomerwa emisango.
Omulamuzi: Mr. Okello Christopher ago ge mannya go amatuufu?
Okello: Yee oweekitiibwa omulamuzi.
Omulamuzi: Lulimi lw’oyagala kkooti ekozesa mu musango gwo?
Okello: Oweekitiibwa omulamuzi Oluzungu lwe njagala okukozesa.
Omulamuzi: Ng'enda kukusomera emisango naye nkujjukiza nti olina eddembe okubeera ne munnamteeka era balooya babiri baakuweereddwa bakuwolereze. Njagala okukakasa oba wabategeddde n'oyogerako nabo.
Okello: Yee, oweekitiibwa nayogedde nabo.
Omulamuzi: Njagala era okukujjukiza nti otwalibwa nti tolina musango okutuusa nga kikakasiddwa nti waguzza.
Okello: Kale oweekitiibwa omulamuzi.
Omulamuzi: Bw'oba okooye okuyimirira oli waddembe okuweebwa akatebe n'otuula wabula bw'oba olina ky'oyagala okubuulira kkooti, oyita mu bannamateeka abakuwolereza naye mu kiseera kino, wuliriza bulungi nkusomereemisango egikuvunaanibwa.
Ogusooka gwa butemu, ekikontana n’ennyingo 171 ne 172 ey'ekitabo ekirung'amya emisango n’ebibonerezo byagyo ekya Penal Code Act. Kigambibwa nti ggwe Okello Christopher Onyum nga April 2, 2026 ku Ggaba Early Childhood Developmente Center mu Ggaba Trading Center, Makindye Division Kampala District, n’ettima ssaako ekigendererwa ekirowoozeddwaako watta omwana Eteku Gideon. Omusango ogukusomeddwa ogutegedde?
Okello: Ngutegedde oweekitiibwa omulamuzi.
Omulamuzi: Oyanukula otya?
Okello: Otegeeza nti oba nzikiriza oba nneegaana?
Omulamuzi: Weetaaga okwogerako ne balooya bo?
Okello: Yee oweekitiibwa
Omulamuzi: Kale yogera nabo
(Okello ayogerako ne balooya be).
Omulamuzi: Oyanukula otya ku musango?
Okello: Ngwegaana
Omulamuzi: Kkooti ewandiise nti weegaanyi. Awo abantu ne baalekaana nga bawakanya ekya Okello okwegaana omusango gw'amanyi nti ddala yaguzza.
Omulamuzi: Bannange tuli mu kkooti eby'okuleekaana ebyo tebikkirizibwa. Tuwe kkooti ekitiibwa.
Omulamuzi: Omusango ogwokubiri gwa butemu ekikontana n’ennyingo 172 ne 172 ey’ekitabo ekirung'amya emisango n’ebibonerezo byagyo. Nga kigambibwa nti ggwe Okello Chritopher Onyum nga April 2, 2026 ku Ggaba Early Childhood Development Center mu Ggaba Trading Center e Makindye mu Kampala n’ettima ssaako ekingendererwa ekirowoozeddwaako, watta KeishaAgenorwoth Otim. Omusango oguwulidde?
Okello: Yee oweekitiibwa omulamuzi.
Omulamuzi: Oyanukula otya?
Okello: Ngwegaana.
Omulamuzi: Kkooti ewandiise nti weegaanyi
Omualmuzi: omusango ogwokusatu gwa butemu ekikontana n’ennyingo 171 ne 172 mu kitabo ekirungamya emisango n’ebibonerezo byagyo. Kigambibwa nti ggwe Okello Christopher Onyum nga April 2, 2026 ku Ggaba Early Childhood Development Center mu ggaba rabding center e Makindye mu Kampala n’ettima ssaako ekigendererwa ekirowoozeddwaako, watta Sseruyange Iganatius. Omusango oguwulidde
Okello: Yee oweekitiibwa omulamuzi.
Omulamuzi: Oyanukula otya?
Okello: Ngwegaana.
Omulamuzi: Kkooti ewandiise nti weegaanyi.
Omulamuzi: Omusango ogwokuna gwa butemu ekikontana n'ennyingo 171 ne 172 mu kitabo ekirung'amya emisango n'ebibonerezo byagyo. Kigambibwa nti Okello Chritpoher Onyum nga April 2, 2026 ku Ggaba Early Childhood Development mu Makindye disitukiti y'e Kampala n’ettima ssaako ekigendrerwa ekirowoozeddwaako, watta Ryan Odeke. Omusango ogutegedde
Okello: Yee oweekitiibwa omulamuzi.
Omulamuzi: Oyanukula otya?
Okello: Ngwegaana
Muwaganya: Waliwo obujulizi bwe twakkaanyizzaako wakati w'oludda oluwaabi n'oluwawaabirwa era munnange Anna Kiiza agenda kubwanjulira kkooti.
Omulamuzi: Ab'oludda oluwawaabirwa kituufu ekyo?
Kumbuga: Kituufu oweekitiibwa omulamuzi twayogedde n'omuwawaabirwa era n'akkiriza.
Omulamuzi: Okello balooya bagamba balina obujulizi bwe bakkaanyizzaako n'oludda oluwaabi era kitegeeza oyo omujulizi tajja kujja mu kkooti kubaako ky'agamba kyonna kw'ebyo bye mwakkaanyiizzaako.
Okello: Yeee nzikiriza balooya bange bambuulidde ne nzikiriza.
Omulamuzi: Wuliriza bulungi ebigenda okukusomerwa kuba kijja kwetaagisa okubissaako omukono.
Kiiza: Oweekitiibwa omulamuzi twakkiriziganyizza ku bbaluwa z’omusawo eyeekebejja abaana bano abattibwa ku ffoomu za poliisi PF48B nga ziri nnya okwandiikibwa ebyava mu kukebera abaana ku fayiro nnamba CRB 0261/2026 okuva ku poliisi e Ggaba ng’abaana baakeberwa Dr. Abdul Katongole mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago nga April 2, 2026.
Ebbaluwa esooka ye Gideon Eteku yali mwana mulenzi atannatuuka mu myaka gisoma nga muddugavu era ng'annyogoga. Yalina amannyo 12 era ng’oluba lwe luli wamu. Omubiri gwali gupeeruuse ng’alina ekiwundu ku ludda olwa ddyo olw’ensingo kya sentimita 14 nga kyasaliddwa bulungi.
Ekiwundu kyali kiwanvu okusinga

Tags: