EBYAVUDDE mu kukebera abagambibwa okubeera abaana b'omugenzi Paulo Job Kafeere bikomyewo, obunkenke ne bweyongedde mu baana ne bamaama baabwe nga beetegekera okubibanjulira wiiki eno.
Minisita Balaam Barugahara yategezezza Bukedde eggulo nti enteekateeka zonna ziwedde okwanjula ebyavudde mu DNA era nti abaana bonna, bamaama baabwe n'aba ffamire bayitiddwa ku kitebe kya Poliisi e Naggulu ku Lwokuna lwa wiiki eno (June 25) ku ssaawa 5:00 e’zokumakya babakwase ebyavudde mu musaayi.
Kyokka Balaam nga ye yakulemberamu enteekateeka z’okukebera endaga butonde z’abaana bano, okuzuula aba kafeero abatuufu, yategezezza nga ku baana 35 abaasooka okuvaayo, 25 be bagenda mu kifo kya Gavumenti we bakeberera omusaayi e Wandegeya ne baggyibbwako omusaayi nti 10 baatya ne beemulula nga bababuulidde obulabe obuli mu kwewaayiriza nti baana ba mugenzi sso nga bamanyi ekituufu .
“Buli kimu kiggwa Lwakuna. Omukolo gw’okubakwasa ebyavudde mu musaayi gugenda kubeera ku kitebe kya Poliisi e Naggulu era abaana ne bamaama baabwe bonna tumaze okubategezza okubaayo ssaako abooluganda n’abaali mikwano gy’omugenzi abookulusegere.” Balaamu bwe yanyonyodde.
ABA FFAMIRE BALINZE BIVA MU MUSAAYI OKUNUNULA EMMAALI YA KAFEERO
Abubaker Nende muto w’omugenzi Kafeero yasoose kutegeeza nga bbo aba ffamire bwe beteeseteese okufuna ebinaava mu musaayi era tebasuubirayo mwana oba maama yenna kuwakanyabinasomebwa kuba enteekateeka zonna zikoleddwako bakugu ate n’omusaayi gwakebereddwa okuva mu bifo bibiri ebyenjawulo.