Ebizuuse ku awamba abaana n’asaba ssente

EBIZUUSE ku muvubuka Fred Mwanje 28, agambibwa okuwamba abaana n’asaba kantanyi wa ssente eyattiddwa, byongedde okusattiza poliisi.Mwanje, nga tannattibwa, kigambibwa nti yabadde yaakamala okuwamba omwana Quiram Ssegawa 6, ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde n’ateeka bazadde be ku nninga okumuwa obukadde 2 okumubaddiza.

Ismael Ssenfuka, jjajja w’omwana Ssegawa eyabadde awambiddwa ng’ali ne muzzukulu we.c
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EBIZUUSE ku muvubuka Fred Mwanje 28, agambibwa okuwamba abaana n’asaba kantanyi wa ssente eyattiddwa, byongedde okusattiza poliisi.
Mwanje, nga tannattibwa, kigambibwa nti yabadde yaakamala okuwamba omwana Quiram Ssegawa 6, ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde n’ateeka bazadde be ku nninga okumuwa obukadde 2 okumubaddiza.
Ismael Ssenfuka, jjajja wa Ssegawa era nnannyini maka awaawambiddwa
omwana e Kikumbi mu divizoni y’e Bunnamwaya mu munisipaali ya Makindye  Ssaabagabo, yategeezezza nti okutta Mwanje mu bwangu kyandiba nga kyabadde kigenderere okubuza obujulizi obwandibadde buluma bantu abalala abali mu kabinja
kano.
Ekimwewuunyisa bwe yagenda ku poliisi e Katwe okufuna obuyambi, waliwo omu ku baserikale abakola ku kkamera eyamutegeeza ng’ennamba omuvubuka ono gye yali akozesa okubakubira okubasaba ssente bw’agimanyi obulungi era nga yali enoonyerezebwako ku misango gye gimu egy’okuwamba abaana n’okusaba
ssente.
Yamuwa amagezi bw’aba alina ssente aziweeyo asobole okutaasa obulamu bwa muzzukulu we.
Wadde yeewuuba enfunda eziwera ku poliisi eno, naye teyafuna buyambi busingawo. Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde yafuna essimu okuva ku poliisi e Katwe nga bamutegeeza ng’omuyiggo gw’omuvubuka eyawamba muzzukulu we bwe gutandise. Waayita essaawa bbiri zokka n’addamu okufuna essimu ng’emugamba nti omuvubuka attiddwa mu bitundu by’e Kibiri.
Ekigendererwa kya poliisi okutta omuntu agambibwa okubeera emabega w’okuwamba muzzukulu wange ng’abatutteko ssente awatali kusooka kunoonya bantu b’akolagana nabo kyennyamiza era kireeta bibuuzo bingi ebitannaba kuddibwamu,” Ssenfuka bwe yagambye.
Mwanje abadde akozesa essimu nnamba 0701790… okukubira abazadde nga bw’abasaba obukadde obubiri. Abadde ayogeza bboggo era ng’alaga nti
tewali asobola kumukwatako. Hassan Ssentongo azaala Ssegawa eyabadde awambiddwa agamba nti Mwanje abadde amugamb u ssimu nti ne poliisi
emumanyi kuba omulimu aguluddemu era tateesa era tasonyiwa.
Mwanje abadde mutuuze w’e Masajja - Kibira Zzooni B, mu Makindye - Ssaabagabo, e Wakiso, era kigambimbwa nti waliwo akabinja ka bakomando ba poliisi akabadde kaatandise dda okumulinnya akagere nga kakozesa tekinologiya abamuguddeko mu nfo we yabadde yeekukumye.
Kigambibwa nti ono yasangiddwa ne pikipiki nnamba UEM 418Z egambibwa okukozesebwa okuwamba Ssegawa okuva e Kikumbi era ng’abadde agyeyambisa okutambula mu disitulikiti ez’enjawulo okuli Kampala, Wakiso, Buikwe ne Mukono. Poliisi erumiriza nti Mwanje we baamukubidde amasasi baamusanze n’abaana basatu be yanunudde era yabategeezezza nti abadde yaakawamba musanvu ng’akanda bazadde baabwe ssente.
Robert Katamba, ssentebe w’ekyalo Kikumbi ng’ali wamu n’abatwala ebyokwerinda mu kitundu, baatuuzizza olukiiko lw’ebyokwerinda ku Ssande olwabadde olw’ebbugumu okwogera ku nsonga z’okuwambibwa kw’omwana era abatuuze ne bavumirira eky’okutta omuntu eyandibawadde obujulizi.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, yategeezezza nti Mwanje yattiddwa mu butanwa, baserikale abaabadde mu kikwekweto
okwabadde n’abeekitongole ekirwanyisa obutujju ne Flying Squard. Ku nsonga y’abaserikale be balumiriza okukolagana ne Mwanje, yagambye nti bakyaginoonyerezaako bazuule ekituufu.
GYE BAMUZAALA BALOJJA
Mwanje eyattiddwa abeebyokwerinda, yaziikiddwa ku Ssande ku kyalo Lugasa mu muluka gw’e Ddungi mu ggombolola y’e Ngogwe mu disitulikiti y’e Buikwe.
Aboogezi abenjawulo obwedda buli akwata akazindaalo baavumiridde abeebyokwerinda olw’okukwatanga abantu ate ne bamala ne babatta kye baagambye nti kireka ekibuuzo bingi.
Abamu baajulizza ebya Ssebulime eyakubwa amasasi e Nagojje ku bigambibwa nti yali mu lukwe lw’okwagala okutta eyali minisita omubeezi ow’ebyettaka, Idah Erios
Nantaba.
Aba ffamire y’omugenzi baalaze obulimi olw’okutta omuntu waabwe ne bategeeza nti si
bamativu na nneeyisa ya poliisi. Omusumba w’abalokole, Edwardkiibi, asumba ekkanisa ya Jesus Is Our Hero, yagambye nti omugenzi abadde amumanyi nga ne ku Paasika y’omwaka guno yasabira mu kkanisa ye gye yajja ne muganda we Moses Ssennono.
Isaac Walugembe eyabadde kalabaalaba w’okuziika yagambye nti Mwanje yalabibwako ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ku kyalo ng’alina ssente nnyingi era abaali okumpi yabagulira ebyokulya n’okunywa. Kye bataamanya nti yali abasiibula.
Omutuuze omulala Tom Wamala yavumiridde ebikolwa by’okutta abantu abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka. Ekikolwa kino yakirabye ng’okubikkirira abamenyi b’amateeka abamu