EBINTU by'abayizi ebiwerako , bitokomokedde mu muliro ogukutte ekisulo ky'abayizi abawala e Bulindo mu munisipaali y’e Kira.
Omuliro gukutte ekisulo ky'essomero lya Midland Junior School e Bulindo mu Wakiso mu ddoomu y'abayizi ba P6 ne P7 era ebintu byabwe ebiwerako ne bitokomokeramu.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire agambye nti abazinyamooto basobodde okwanguwa ne baguzikiriza naye nga bakyabuuliriza ku kivuddeko omuliro guno.