Ekitongole ekibaga n’okugolola ebigezo by'abasawo n'abo abasoma eby’ekuusa ku busawo ki Uganda Health Professions Assessment Board kifulumizza ebyava mu bigezo byabasawo .
Omukolo gw’okubifulumya gubadde mu maka g'obwa Pulezidenti e Nakasero era nga minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Kataha Museveni yabadde omugenyi omukulu.

Minisita Janet Kataha Museveni nga bamukwasa ebigezo
Bino bibadde bya mulundi gwa kubiri nga Ekitongole kino kyekivunaanyizibwa ku bigezo bino , bino byatuulwa mu December wa 2025 era abayizi ababituula baali 100,272 okuva mu matendekero 215.
Ssentebe wekitongole kino Dr. Alfred Driwale ategeezezza nti ku bayizi 100,272 abatuula ebigezo , abayizi 81,230 bakyeyongerayo n’emisomo gyabwe ate 19,042 bebaakola ebyakamalirizo
Ategeezezza nti nga ekitongole bamalirivu okulaba nga bafulumya abaweereza mu by’obulamu abakugu obulungi era abamalirivu mu mirimu gyabwe ekintu ekigenda okuyamba okusitula wamu n’okulakulanya eggwanga .
Ssabawandiisi w’ekitongole Hellen Mukakarisa Kataratambi ategeezezza nti ebibuuzo ebifulumye leero byabo 19,042 abakoze eby’akamalirizo
Ku bano 5,377(28.2%) ba dipulooma ate 13,665(71.8%) ba satifikeeti .

Janet Kataha Museveni nga bamukwasa ebigezo
Abayizi 12,989(68.2%) bawala ate 6,053(31.6%) balenzi
Mu nkola y’abayizi Mukakarisa ategeezezza nti abayizi ba satifikeeti 95.8% bayise , 215(1.6%) bagudde ate 361(2.6%) tebatuula okwawukanako n’aba dipulooma 83.2% abayise 724 (13.4%) bagudde ne 184(3.4%) .
Minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Kataha Museveni asiimye ekitongole olw’omuwendo gw’abaana ogw’eyongedde mu busawo wamu n’okukola obulungi mu bigezo .
Asabye abayizi okutwala bye basomye nga okuyitibwa okuweereza so si nga abafunye obufunyi empapula z’obuyigirize