Amawulire

Kkooti egobye okweyimirira kwa Male Mabirizi  olw'okulemwa okwogeera awatuufu wabeera

Ebya Male Mabirizi bikalubye oluvannyuma lwa kkooti okusazaamu okusaba kwokweyimirwa.   

Male Mabirizi ng'ali mu kkooti
By: Harriet Nakalema, Journalists @New Vision

Ebya Male Mabirizi bikalubye oluvannyuma lwa kkooti okusazaamu okusaba kwokweyimirwa.

Ensalawo ya kkooti kiddiridde  oludda oluwabi okusaba kkooti okusazaamu okusaba kwabwe olw'ensoonga ya Mabirizi obutabeera na kifo kituufu kiraga wabeera.

Mu nsala yomulamuzi Ritah Neumbe Kidasa gyawadde kkooti asinzidde ku nsonga byabeyimirira Mabirizi baleeta endagamuntu ezaggwako nga ate   gavumenti yateekawo obudde abantu okuddayo okwewandiisa obuggya.

Male Mabirizi ng'ali mu kkooti

Male Mabirizi ng'ali mu kkooti

Ku nsonga ya Mabirizi obutaba na ndagamuntu yateekayo ennamba wabula Nin eyo terambika bulungi nti ono alina endaga muntu.

Wano wasinzidde nagoba okusaba kwokweyimirirwa kwe era wano munnamateka wa Mabirizi Anthony Asiimwe n'asaba omulamuzi okuyimuriza omusango guno okugenda mu maaso olwensonga nti balina fayiro zebaggulawo mu kkooti etaputa ssemateeka.

Wabula Mabirizi taliinze munnamateka we kumaliriza kusaba nategeeza nga bwayagala  omulamuzi ave mu musango ggwe kuba kati yakakulungula ennaku 31 mu kkomera bukyanga aggulwako misango.

Omulamuzi omusango agwongeddeyo okutuusa nga March 20,202 okumanya wegunaaba gutuuse wamu nokutandika okuwulirwa.

Mabiriizi avunaanibwa emisango 4 okuli egyokusaasaanya obubaka abukyamu wamu n'okusiga obukyayi bweyakozesa ebyuma bi kaimagezi nga agamba nti Ssabalamuzi w'eggwanga Flavian Zeija n'omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Musa Ssekaana bali wanguzi.

Tags: