l Amabanja galinga lubuto lwa mwana, olufuna mu kwagala n’oluzaalira mu bulumi. (Moliere lino linnya lya Jean Baptiste Poquelin erya siteegi anti munnakatemba era muwandiisi wa mizannyo mu France.)
l Enzigi ze tuggula n’okuggala buli lunaku ze zitusalirawo obulamu bwe tugenda okuwangaaliramu (Flora Whittemore yali muwandiisi wa bitabo ng’awandiika emiko mu mawulire).
l Omunafu addihhana akira omulima nnabbimbi (Njogera y’Abaganda)
l Omukungu azuukusa eggwanga naye munnabyabufuzi alyebasa n’okufuluuta ne lifuluuta (Mark Twain linnya lya Samuel Langhorne Clemens lye yakozesanga mu kuwandiika anti yali muwandiisi wa butabo ng’alina n’ekyapa era yali musomesa mu Amerika).
l Ogusolosolo tegumanya nti gusolosolo n’omuntu gy’akoma okusemberera okufuuka ogusolosolo gy’akoma obutakimanya (Philemon George MacDonald, awandiikira mu linnya ly’omuddu eyavaako Omutume Pawulo okuwandiika ebbaluwa eri Philemon mu Ndagaano Empya)).
l Tomalanga wadde sikonda emu ey’obulamu bwo ng’olowooza ku muntu gw’otoyagala (Tamanyiddwa)
l Demokulaasi tali mu kulonda, ali mu kubala bululu. (Tom Stoppard Mungereza enzaalwa ya Czechoslovakia, muwandiisi wa firimu ezizannyibwa ku TV ne leediyo).
l Ekisinga okunyuma mu bulamu kwe kukola ekyo abalala kye bagamba nti tosobola kukikola (Walter Bagehot yali musuubuzi era munnamawulire mu Bungereza eyawandiika ennyo ku byenfuna ne gavumenti).
l Omukwano masavu, ogalya gakyayokya (Njogera y’Abaganda).
l Obuvumu kwe kuzuula nti oyinza obutawangula naye era n’ogezaako wadde ng’okimanyi nti oyinza okulemwa (Meimei linnya lya siteegi erya munnakatemba azannya mu firimu ya Jujutsu Kaisen).
l Omuntu bw’akwagala ennyo akuwa amaanyi naye bw’oyagala ennyo omuntu ofuna obuvumu (Lao Tzu yali nzaalwa ya China nga mufolosoofa).
l Omuntu asobola okuwangaala ennaku 40 nga talidde, asobola okuwangaala ennaku ssatu nga tanywedde, asobola okuwangaala eddakiika munaana awatali mukka gw’assa naye awangaala sikonda emu yokka nga talina ssuubi. (Hal Lindsey Mumerika omubuulizi w’enjiri era muwandiisi wa butabo bwa ddiini, alina emyaka 91)
l Bw’olowooza nti osobola era oba osobola (Buddha, Muyindi eyatandika eddiini ya Buddha).
l Bw’ompaana nnyinza obutakkiriza, bw’onnenya nnyinza obutakwagala, bw’otonfaako nnyinza obutakusonyiwa, bw’onzizaamu amaanyi siyinza kukwerabira, bw’onjagala oyinza okumpaliriza nange okukwagala (William Arthur, yali munnaddiini era omuwandiisi w’ebitabo).
l Okuwummula si kutuuka (Njogera y’Abaganda)
l Ebyobuwangwa kitegeeza kugaziya bwongo n’omwoyo (Jawaharlal Nehru, yali Katikkiro wa Buyindi okumala emyaka 17).
l Ebyobuwangwa bye bintu bye tukola enkima bye zitakola (Lord Raglan, yali mujaasi mu ggye lya Bungereza).
l Embeera zaffe ze zituzuukusa okuva mu buliri buli ku makya, okwekubiriza kwe kutusobozesa okubaako kye tukola ate empisa ne zitusobozesa okukituukiriza (Zig Ziglar yali Mumerika omuwandiisi w’ebitabo era kitunzi, yafa mu 2012).
l Tusuubiza okusinziira ku ssuubi lye tulina, ne tukola okusinziira ku kutya kwe tulina (Francois de la Rochefoucald, yali Mufalansa omuwandiisi).
l Omuntu bw’addihhana ekisuubizo manya nti tajja kukituukiriza (Njogera).
l Omuntu alwawo okusuubiza y’asinga okufuba okutuukiriza ekisuubizo (Jean-Jacques Rousseau yali mufolosoofa ng’ono ye muntu eyeefumiitiriza ku kintu n’akireetako endowoza empya, e Geneva).
l Ebbanja likufuula muddu (Ralph Waldo Yali muwandiidi era omusomesa mu Amerika).
l Omwenge guyinza okuba nga ye mulabe w’omuntu asingira ddala naye Bayibuli egamba nti yagala omulabe wo (Frank Sinatra yali muyimbi era munnakatemba mu Amerika. Yatunda obutambi bw’ennyimba ze obukunukkiriza mu bukadde 150).
l Ebbanja lizaala obusiru n’obumenyi bw’amateeka (Benjamin Disrael yaliko Katikkiro wa Bungereza era yakola kinene okuzimba ekibiina kya Conservative Party eky’omulembe guno.)
l Kisingako okwebaka n’omusezi atatamidde okusinga okwebaka n’omulokole atamidde (Herman Melville yali Mumerika omuwandiisi w’obutabo n’obuboozi obumpimpi era yali mutontomi).
l Eddya ebbi likusooka mwana (Njogera y’Abaganda).
l Nywa ekisaamusaamu kubanga omutamiivu takuuma kyama wadde okutuukiriza ekisuubizo (Miguel de Cervantes yali muwandiisi wa butabo mu Spain).
l Bw’oba tosobola kukyetooloola, nga tosobola kukibuuka wadde okukiyitamu, teesa nakyo (Ashleigh Brillian Mungereza eyabeeranga mu California, Amerika ng’akuba obufaananyi obwogera - katuuni).
l Eggwanga erisaasaanya omusimbi ku byokwerinda nga gulinnya mwaka ku mwaka, mu kifo ky’okuzimalira ku kukulaakulanya embeera z’abantu eryo liba lyolekedde kufa (Martin Luther King yali Mumerika munnaddiini eyalwaniriranga eddembe ly’obuntu).
l Teweesiganga magezi gakuweebwa muntu ali mu buzibu (Aesop yali Mumerika eyagereesanga).
l Totwalanga magezi gakuweebwa muntu atayitanga mu buzibu ggwe bw’olimu (Sidney Harris yali Mumerika akuba obufaananyi obwogera- katuuni).
l Towanga omuntu yenna magezi okutabaala oba okuwasa (Njogera ya Spain).
l Eyeeganya bba ng’afunye gy’alaga (Njogera y’Abaganda).
l Bw’oba totegeera mpisa za muntu, tunuulira eza mikwano gye (Njogera ya mu Japan).
l Ekirungi kya demokulaasi kiri nti awa buli mulonzi omukisa okukolayo eky’obusiru (Art Spander muwandiisi wa byamizannyo mu Amerika mu lupapula lwa San Fransisco Examiner).
l Kamu kamu gwe muganda (Njogera y’Abaganda)