l Omukwano gulinga ggiraasi, bw’eyatika toyinza kigiddizaawo ddala nga bwe yali. (Tamanyiddwa)
l Nditoola ne mpaayo nga yasikira bisikire (Njogera y’Abaganda)
l Ozaalibwa omu, okula bwomu, ofa bwomu. Mu kwagala n’omukwano mwokka mw’oyita okuwona obwomu buno okumala akaseera (Orson Welles yali muzannyi era omuwandiisi wa firimu ayogerwako mu Amerika).
l Atunda ayolesa y’amazaawo (Njogera y’Abaganda)
l Tewali asobola kudda mabega n’akola entandikwa empya naye osobola okutandikira awo w’oli kati n’okola enkomerero empya (Maria Robinson wa myaka 34 akiikirira disitulikiti eyoomukaaga eya Middlesex ku lukiiko lwa Massachusetts mu Amerika).
l Bw’osalawo obutakola kintu kyonna okutuusa ng’omaze okukakasiza ddala nti kisaana okukolebwa, tojja kuba na bingi by’okola (Win Borden yali looya, munnabyabufuzi era munnabizinensi mu Amerika).
l Nnaakalyako ani, abulwa gw’akkusa (Njogera y’Abaganda).
l Enjawulo wakati w’essomero n’obulamu eri nti mu ssomero basooka kukuwa ssomo ne balyoka bakugezesa ate ng’obulamu busooka kukuwa kigezo, kw’oyigira essomo (Win Borden).
l Nnaasiwa mu kange asiwa mu ka bukuku (Njogera ‘Abaganda)
l Okumanya tekimala, oteekwa okukozesa by’omanyi. Okuba omwetegefu okukola tekimala, oteekwa okukola (Johann von Goethe yali Mugirimaani omutontomi omuwandiisi w’obutabo era munnasaayansi).
l hhanda nnyingi ow’essimba akubula (Njogera ‘Abaganda)
l Okwagala kulinga lutalo, lwangu okutandika, luzibu okukomya (H.L. Mencken yali munnamawulire mu Amerika, ng’awandiika nnyo ku byobuwangwa).
l Teri musajja ayinza okuba omufumbo owa nnamaddala nga tasobola kutegeera buli kigambo mukyala we ky’atayogedde (Tamanyiddwa)
l Omusajja omukadde awasa omuwala omuto adda buto naye ye omuwala n’akaddiwa (Tamanyiddwa)
l Olummanyimmanyi lukukwasa embwa ya muganzi wo mu mannyo (Njogera ‘Abaganda)
l Tetusobola kutegeka biseera bya mu maaso olw’abavubuka baffe naye tusobola okutegeka abavubuka baffe olw’ebiseera eby’omu maaso (Franklin Roosevelt yali pulezidenti wa Amerika owa 32 okuva 1933 - 1945).
l Linda kiggweeyo afumita mukira (Njogera ‘Abaganda)
l Abavubuka abasonyiyibwa buli kimu tebeesonyiwa, abakadde abeesonyiwa buli kimu tebasonyiyibwa n’akamu (George Benard Shaw yali Mungereza omuwandiisi w’emizannyo).
l Linda buwere yawanguza Buvuma (Njogera ‘Abaganda)
l Okunyumirwa omulimu gw’okola kinyiriza by’okola (Aristotle Mufolosoofa Omugereeki).
l Gayita ku kibi ne gaseka (Njogera ‘Abaganda)
l Bw’oba oyagala okugaggawala lowooza ku kutereka n’okuyingiza (Benjamin Franklin yali omu ku batandisi ba USA).
l Amatu agatawulira mukama waago gabikka ntembo (Njogera ‘Abaganda)
l Obugagga ye muddu w’omugezi ate ye mukama w’omusiru (Seneca yali mufolosoofa okuva e Roma).
l Obuziina gye babwagala gye babwaliirira (Njogera ‘Abaganda)
l Engeri yokka ey’okufuula omuntu omwesigwa kwe kumwesiga (Henry Stimson yali Mumerika munnabyabufuzi era looya).
l Bw’oseka ensi yonna eseka, bw’ofuluuta, weebaka wekka (Anthony Burgess yali Mungereza omuwandiisi w’obutabo).
l Ekiri ewala mpenduzo y’ekiggya (Njogera y’Abaganda)
l Kisingako okwebakira ekintu nga tonnakikola okusinga okusula ng’otunula oluvannyuma lw’okukikola (Baltasar Gracian yali muwandiisi era omufolosoofa okuva mu Spain).
l Ssebageya nnyonnyi nga nnamunye ali ku nju (Njogera y’Abaganda)
l Omuntu gy’akoma okuba n’ebintu ebingi by’aswalira gy’akoma okuweebwa ekitiibwa (George Bernard Shaw).
l Ekiseera eky’okusaba si kyekyo ng’oli mu buzibu naye nga waakabuvvuunuka (Josh Billings).
l Ky’olimba obuko kye kibutta (Njogera y’Abaganda)
l Omugezi ssente azissa mu bwongo bwe naye si mu mutima gwe (Jonathan Swift yali Mungereza omutontomi era munnaddiini).
l Teweefuulanga ayagala omuntu ate nga tomwagala kubanga omukwano toguwa biragiro (Alan Watts yali Mungereza omuwandiisi era omufolosoofa).
l Awo nno nga nkulabira, nga by’anyumya biweddeyo (Njogera y’Abaganda)
l Twala obudde olowooze ku ky’ogenda okukola naye obudde bw’okukola bwe butuuka lekera awo okulowooza, okole (Andrew Jackson yali pulezidenti wa Amerika owoomusanvu eyafuga okuva 1829- 1837).
l Sifugibwa afa ajeera (Njogera ‘Abaganda)
l Omulyazaamaanyi alya gw’asinze (Njogera ‘Abaganda)
l Omukwano ogwannamaddala gulabwa mutima so si maaso (Antoine de Saint yali munnamawulire Omufalansa era omutontomi).
l Nange awo we nalabira, nga gw’ogeya atuuse (Njogera y’Abaganda)