MUNNANSI akubye Gavumenti ne Palamenti mu kkooti ng’asaba abalamuzi bayimirize ennongoosereza ezaayisibwa mu tteeka erifuga amagye erya UPDF 2025 okutuusa nga litereezeddwa.
Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi omusango yagutaddeyo ku Lwokubiri nga June 24,
2025 mu kkooti ejulirwamu n’alaga engeri ennongoosereza ezaayisibwa Palamenti bwe zityoboola Ssemateeka n’enfuga ya demokulasi.
Yawadde ensonga mukaaga kwe yeesigamye okusaba kkooti eyimirize etteeka lino okukola okuli; Lityoboola eddembe ly’obuntu, teriwa mukisa akwatiddwa kuwulirizibwa
musango gw’aba akoze mu mbeera y’okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti z’amagye ezirina ebiragiro ebikakali.
Yalaze nti lirinnyirira eddembe ly’okweyogerako n’obwenkanya naddala mu nnyambala nga ligaana engoye ezimu okwambalwa bannansi ne lifuula engoye zaabwe nti zifaanagana ezambalwa abaserikale.
Likontana n’obuwaayiro obumu mu Ssemateeka obwogera ku ddembe ly’obuntu. Enkola y’etteeka lino ekontana n’eya kkooti eza bulijjo ezikkirizibwa okuvunaanirwamu bannansi.
Etteeka lino era likontana ’amateeka g’amawanga agafuga eddembe
ly’obuntu ate nga Uganda mmemba mu bibiina ebigigatta n’amawanga amalala.
Dr. Ssemugenyi yalaze nti etteeka lino likontana n’amateeka agafuga obuyinza n’enkola egoberera enfuga y’amateeka.
Mu mpaaba ye, yalaze nti kkooti etaputa Ssemateeka erina obuyinza obutaganjula obuwaayiro bwonna mu Ssemateeka nga buyisiddwa Palamenti ’eragira butereezebwe
oba buyimirizibwe singa ezuula nti bunyigiriza bannansi oba wayisiddwa mu bukyamu.
Mu biwandiiko bye yataddeyo mu kkooti, yagisabye erangirire nti ennongoosereza
ezaakolebwa mu tteeka erifuga UPDF 2025, limenya Ssemateeka era lirangirirwe nti ffu.Yasabye abalamuzi bafulumye ekiragiro ekirigaana okussibwa mu nkola, balagire
etteeka liddemu lyekenneenyezebwe n’obuwaayiro obuwa abaserikale obuyinza
obw’enkomeredde buggyibwemu. Yasabye kkooti emuliyirire by’ataddemu ate abalamuzi bwe bataganjula obujulizi ne basanga nti waliwo ebiragiro ebirala by’ataasabye e