Bya Josephat Sseguya
SADDAM Rashid Lukwago yakigwako lwa kukebeza musika we gwe yali amaze n’okusomesa eby’obusawo bwe yakizuula nti, si y’amuzaala yamala ennaku ssatu nga tamanyi biri ku nsi.
Bwe yadda engulu n’abyesonyiwa era n’asalawo amufuule mwana we wadde yali akitegedde nti si y’aamuzaala ate nakyo ne kimufuukira eky’obulabe ng’omwana aluse ppulaani emubba amukalize.
Ono ye Lukwago omusawo wa Herbal e Wakaliga ajjanjabisa obutonde. Yategeezezza Bukedde eggulo nti, omwana gwe yasooka okuzaala, ng’omusajja Omuganda, yamumalirako amaanyi ng’akimanyi nti, ye musikaawe n’amuweerera mu masomero ag’ebbeeyi ku King Fahad kyokka ng’abaana abalala yabateeka mu masomero gaabulijjo.
Anyumya nti, ku myaka 17 omwana we ono gwe yazaala mu mukyala gwe yasooka okuganza e Rakai gye yakulira (baali baamuliraano), yamuzaala omu era agenda okufuna abakyala abalala b’alina kati abasatu n’ekitundu (ekitundu nja kukinnyonnyolako), yabafuna nga yafuna dda mukyalamukulu.
Abakyala abalala nabo baazaala abaana kyokka waliwo omukyala omu gwe yasangiddwa naye e Wakaliga gw’alinamu n’abalongo eyazaala abaana abawala abaavaako Lukwago okukebeza omusikaawe.
“Abaana bantegeeza nti, mukulu waabwe abalingiza ne kintabula obwongo. Mu kutabulwa ate saakitwala nga kikulu kubanga nga ndaba ng’ekitayinza kuba nga kikolebwa. Mu kulowooza nti abaana bawaayiriza munnaabwe, baagattako oluvannyuma nti ate abakwatirira mu ngeri eyeesittaza awo we nnasalirawo ekyokukola ng’omusajja, nga kyali kya kumukebeza musaayi ndabe ekyo kw’akiggya”, Lukwago bwe yategeezezza nga bwe yennyamira buli lw’ajjukira ebyaliwo mu 2017 lwe yakebeza mutabaniwe ono.
Dna Test
Agamba nti bwe yakebera omwana nga si y’amuzaala ate kyamutwalira ennaku ssatu okudda engulu olw’ekikangabwa kye yafuna nga yejjusa ate lwaki yamukebezza.
“Obulumi bwansukkako ne mpunga kubanga nali mmanyi ekyo nakimala, omusika namufuna ate mmusomesezza n’omulimu gwe nkola anaagutwala mu maaso, ajja kunnyamba mu bukadde alabirire ne bato banne”, Lukwago bw’agamba.
Yategeezezza nti, yalumwa nnyo ate omwana (amannya gasirikiddwa) bwe yamwegayirira amusonyiwe kubanga naye ye taata gw’amanyi tamanyiiyo mulala.
Agamba nti bwe yadda engulu yatandika okulowooza ekiddako kyokka nga buli lw’agenda okwebaka, otulo tumubula agenda okuwulira nga n’omwana ali mu kisenge kye asoma dduwa asonyiyibwe wadde DNA yalaze nti tazaalibwa waka.
Lulwago wano we yagambidde nti yamukkiriza abeerewo ng’alaba naye ali mu bulumi.
Wabula agamba nti mu mwaka ogwo ate yatabulwa poliisi bwe yamukubira ssimu nti awaka bakutte ababbi ababadde bamenye ennyumba ye.
“Bwe natuukayo ate ngenda okulaba ng’abagambibwa okuba ababbi kuliko ne mutabani wange yennyini DNA gwe yalaga nti si nze mmuzaala ate nga banne gwe balumiriza okubakulembera okunziba”, Lukwago bwe yagambye.
Mu kaseera kano kyamusukkako n’ayita nnyina w’omwana ono gwe yali yayawukana naye edda era nga yamuleka Rakai gye yali yamufunyisiza olubuto n’amusaba nti, omwana yali yamusonyiwa amukulize ddala nga mutabaniwe kubanga era ye yali amukuzizza naye ku luno amufunire kitaawe omutuufu.
Omusawo Ng'akebera Dna
Maamawe (amannya nago gasirikiddwa) yamutwala era mu kaseera katono n’amulaga kitaawe nga yali alina omudaala gw’ennyaanya n’ebitundu ebirala mu katale e Katwe.
“Awo we nakizuulira nti maama w’omwana yali amanyi obuzaale bw’omwana ono obutuufu kyokka n’asalawo omwana amugabire nze eyali yeesobola mumukulize ng’oboolyawo omwana yali yamulaga dda ne kitaawe nga kye yava yeeyisa nga bwe yali yeeyisiza ku ‘bannyina’ abaali bamuyita munnaabwe”, Lukwago bwe yategeezezza.
Agamba nti n’essaawa eno alina abaana 18 kyokka alina b’awulira ng’ayagala abatwale abakebeze kubanga muli akiwulira nga baabamusiba.
Ekyo ate omuntu y’omu agamba nti akitya kubanga ayinza okulwala nga bwe yalwala lwe yakebeza eyasooka.
Yategeezezza nti alina abakyala basatu abajjuvu kubanga yabawoowa n’omulala omu gwe yayise ow’ekitundu kubanga si muwoowe akyamwetegereza wadde amulinamu abaana.
“Njagala kuzaala abaana 70 ate nga nja kubazaala. Ffe kitaffe yatuzaala tusukka mu 40 naye abaana kyabugagga wadde ate bwe bakugattiramu b’otazaala kiruma nnyo okukuza omwana n’omuteekamu ssente, obwesige n’essuubi lyo lyonna ng’olowooza munno so nga si bwe kiri. Waakiri nkukuza nga si nze nkuzaala nga nkimanyi okusinga okukukuza nga mmanyi nze nkuzaala ate nga si bwe kiri”, Lukwago bwe yagambye.
Yagasseeko nti ekimu ku byamuluma ye taata w’omwana okumutwala nga talina ky’amuwadde so nga ssente z’okumukuza zaali nnyingi nnyo.
Agamba nti omwana alina lufula emu gy’akoleramu mu disitulikiti y’e Wakiso.
Yamalirizza alaga abamu ku baana be abasatu be yasangiddwa nabo e Wakaliga nga bali ne Nnaalongo.
Nnalongo yamuyise mu ofiisi mwe twayogeredde n’amuyitiramu eby’okukebeza abaana be abasigadde n’akkiriza nti ababe bonna wa ddembe okubatwala tekuli mubembeke.