Ddiiru y'ettaka erakidde omugagga wa Kisozi Complex

FAMIRE yeekubidde enduulu ewa Pulezidenti Museveni ng’erumirizza Omugagga wa Kisozi Complex mu Kampala okubaguza ettaka ate n’alikolera ekyapa ekirala n’addamu n’alitunda.Jon Sande eyakulembedde ffamire erumiriza omugagga Kassim Musoke Kiwanuka, owa Kisozi Complex nga bwe yabaguza ettaka n’assa omukono ku mpapula ezikyusa ekyapa era n’akiwaayo eri looya waabwe, kyokka bwe waayita akaseera yaddayo mu ofiisi y’ettaka n’afuna ekyapa ekirala ng’alimbyeyo nti kye yalina kyamubulako.

Kiwanuka Musoke
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

FAMIRE yeekubidde enduulu ewa Pulezidenti Museveni ng’erumirizza Omugagga wa Kisozi Complex mu Kampala okubaguza ettaka ate n’alikolera ekyapa ekirala n’addamu n’alitunda.
Jon Sande eyakulembedde ffamire erumiriza omugagga Kassim Musoke Kiwanuka, owa Kisozi Complex nga bwe yabaguza ettaka n’assa omukono ku mpapula ezikyusa ekyapa era n’akiwaayo eri looya waabwe, kyokka bwe waayita akaseera yaddayo mu ofiisi y’ettaka n’afuna ekyapa ekirala ng’alimbyeyo nti kye yalina kyamubulako.
Ettaka lino eriweza yiika 196 lisangibwa okumpi ne Nkumba mu Wakiso. Ensonga bwe zaawanvuwa n’asalawo okubaliyiriramu ettaka eddala erisangibwa e Buziga kyokka obukwakkulizo bwe yaliteekako ne bubalemesa.
Omwaka gwa 1988, kitaabwe kati omugenzi yagula ettaka eriri ku bbulooka 423, Poloti 4 Busiro Mbubuli n’asasula obukadde munaana. Ekiseera kino omuwendo gw’ettaka lino guli mu buwumbi.

Olwamaliriza okusasula, Kiwanuka ng’ali wamu ne mukyala we Sarah Kiwanuka (eyaliwo ng’omujulizi) yassa omukono ku biwandiiko eby’okukyusa ekyapa okuva mu mannya ge kidde mu ga Sande nga baali baakukikolera wamu ne looya Muzaphar Lwere owa Lwere, Lwanyaga Advocates.
Ffamire yaabwe yabeeranga Kenya, Kiwanuka gye yagenda ne mukyala we nga bakkirizza okutunda ettaka lino era gye bassiza omukono ku mpapula ezikyusa ekyapa kidde mu mannya ga Sande (omwana omukulu mu ffamire).
Sande yakomawo e Uganda mu 2000 ng’alaba ensonga z’okukyusa ekyapa looya Lwere azikutte kasoobo kwe kuzuula nti Kiwanuka ettaka yali yaliguza dda omuntu omulala.
Bwe yagenda mu Minisitule y’ebyettaka, yakizuula nti Kiwanuka yali yaddukira mu ofiisi y’emu n’asabayo ekyapa ekyenjawulo (Special Title) mu 1993, ng’abalimbye nti ekyasooka kyali kyabula olwo n’addamu okutunda ettaka lye yali yabaguza.
Yamutuukirira n’akkiriza nti ettaka yali yaliguza omuntu omulala, n’asuubiza okubawaamu ettaka eddala eriweza omuwendo gwe baasasula.

Kisozi Complex

Kisozi Complex


Okuva olwo Kiwanuka abatambuzza, ekiddiridde ye Kiwanuka ne batabani be okutandika okutiisatiisa abaana ba ffamire ya Sande, kwe kusalawo okuddukira ewa Pulezidenti Yoweri Museveni abataase.
Mu bbaluwa Sande gye yawandiikidde Museveni eyateekeddwaako omukono nga February 10, 2023, egamba nti oluvannyuma lw’okulemera ku Kiwanuka, mu 2010 yasalawo okubawa poloti mwenda (9) eziri ku yiika nga bbiri (2) e Buziga Konge - Kyadondo Block 273, Plots No. 5280, 5281, 5282, 5283, 5284, 5285, 5286, 5287, 5288 okubaliyirira olw’ettaka lye yabaguza n’alitunda kyokka n’agaana okukyusa ebiwandiiko okudda mu mannya ga Sande!
Ekiwandiiko kye bassaako emikono, Kiwanuka ne Sande nga December 2, 2010, Kiwanuka yakkiriza nti yali yasasulwa ku ttaka eryogerwako kyokka olw’embeera eyamutabukako yaliguza omuntu omulala era bwe yatuulamu ne bboodi etwala ekizimbe kye ekya Kisozi Complex Limited, yasalawo ekyuse ebyapa by’ettaka ly’e Buziga lidde mu mannya ga Sande olw’okuliyirira ffamire ye.
Oluvannyuma yeefuula era okuva mu 2010, ebyapa bya poloti zino tabikyusanga, yasalawo okutandika okumuwendulira batabani be abazze bamulabula nti bw’atava ku bya ttaka lino, ekirimutuukako tabanenyanga!
Yava ku mayiro n’amutwala ku lya liizi nga balina okufuna ebyapa mu Buganda Land Board, ate Kiwanuka yasabayo liizi ya myaka etaano nga nayo Sande ye yagisasulira ng’amugamba nti olw’okuba Munnansi wa Kenya (Sande) baali tebayinza kumuwa byapa. Emyaka etaano bwe gyaggwaako, era Kiwanuka yamusasuza liizi endala ey’emyaka 49, nga byonna okutwaliza awamu byamumalako ssente eziri mu bukadde 18 kyokka liizi baagiwandiisa mu mannya ga Kisozi Complex Ltd.
February 2021, oluvannyuma lw’okuzza liizi obuggya yaddayo e Kenya nga Kiwanuka ne looya Lwere bamusuubizza okukola ku byapa ebya poloti zino omwenda bimuweebwe nga biri mu mannya ge wabula okuva olwo bamwetoolooza. Kyokka New Vision bwe yayogeddeko ne looya Lwere agamba nti alwanye nnyo okulaba nga Sande afuna ebyapa naye tamanyi nsonga lwaki Kiwanuka akyagaanyi okuziggusa!
Mu September 2022, aba bboodi etwala Kisozi Complex bakkiriza kkampuni ya Yosh Construction Ltd eya mutabani wa Kiwanuka (Yusuf Kiwanuka Mandwa) okwewola ssente akawumbi kamu mu obukadde 30 okuva mu United Bank of Africa nga basinzeeyo byapa bino omwenda!
Sande yasabye Museveni abayambe okufuna obwenkanya kubanga ensonga z’ettaka lino ze zaavaako n’okufa kwa bazadde be kubanga beetundako buli kimu okuligula n’ekirooto eky’okukola ffaamu naye byonna Kiwanuka yabiremesa kati emyaka 35.
New Vision bwe yayogedde ne Kiwanuka yakakasizza nti ensonga eno agimanyi kyokka nga yagikwasa batabani be, Baker Kiwanuka ne Jaffer Kiwanuka okuwa Sande ebyapa bino ebya poloti omwenda.
Ekikyasembyeyo abaana baawandiikira Buganda Land Board nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Lubega, Babu and Company Advocates nga bagitegeeza nti Kisozi Complex Ltd, eyasaba liizi ku poloti omwenda tekyetaaga liizi zino era n’ezzaayo ebyapa byazo 8 ku byo eri Buganda Land Board. Kyokka kigambibwa nti ekimu ku