BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA MU KATALE NG’AKULEETEDDE BINO
Tukulaze engeri Eddie Kenzo gy’atadde obukwakkulizo ku bayimbi abaagala okugabana ku buwumbi 5 obwamuweereddwa Gavumenti.
Mulimu ebyobugagga, Omutaka Lwomwa, Ying. Bbosa eyakubiddwa amasasi byalese .
Tukuleetedde ebinaagobererwa abayizi abagenda okuddamu S4.
Abayizi 50 bagudde ku kabenje bwe babadde bava ku mupiira.

Mu Byemizannyo: Tosubwa Akadirisa akakuwa Oddi ensava mu Beetingi oyite mu weekendi ng’ensawo nsanyufu. Tukukubidde ne ttooki mu mupiira gwa ManU ne Man City mwe tukulagidde batabani ba Erik Ten Hag we balina enkizo.
Gano n'amalala mu Bukedde w’Olwokutaano akuwa emikisa okwewangulira ensimbi.