OMUKUUMI w’ekitongole ky’obwannannyini akubiddwa amasasi agamuttiddewo wakati mu kulwanagana n’abaserikale ba poliisi n’amagye oluvannyuma lw’okumusanga ng’akuuma ettaka erigambibwa okukaayanirwa abaffamire.
Alex Mumbere 30, ng’abadde akola n’ekitongole ekikuumi ekya Securion Security Company ye yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo.
Bino byabadde ku kyalo Kabale mu ggombolola y’e Kakuuto e Kyotera. Mumbere yaleetebwa Stephania Namwanje okukuuma ettaka lino oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya mu ffamire.
Kigambibwa Mumbere bwe yalabye abajaasi ba UPDF nga bajja ku ttaka lino nga bali ne poliisi kwe kukoocinga emmundu n’ekyaddiridde abamagye kumwesooka ke bamukuba amasasi agaamuttiddewo.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Masaka, Twaha Kasirye yakakasizza okuttibwa kwa Mumbere n’agamba nti kyakoleddwa mu kwetaasa. Kasirye era yavumiridde ekyabamala galeeta baserikale ku ttaka nti bakikola mu nsobi.
Mu ngeri y’emu, Kasirye yalabudde abakuumi okuva mu bitongole by’obwannannyini okukomya omuze gw’okulumbagana abakuumaddembe nga beesiga emmundu nti kikolwa kya bulabe ekiyinza okuviirako abantu okufiirwa obulamu.