OLUPAPULA lwa Bukedde luleese ettu ly’abayizi ba P.7 abeetegekera okutuula ebigezo byabwe eby’akamalirizo, okubayamba okuggwaamu ekiwugwe nga batuuse ku PLE.
Akulira okusaasaanya empapula za Vision Group Bruce Byaruhanga, yagambye nti Bukedde ereese ebigezo ebituumiddwa Pre-PLE Tests, ebitandise olwaleero, nga bitegekeddwa mu ngeri ey’omutindo, okugyirayo ddala ekifaananyi kya PLE.
Ekigendererwa ky’ebigezo bino, Byaruhanga yagambye nti kwe kuyamba abayizi okuggwaamu ekiwugwe nga batuuse ku PLE, kw'ossa omuyizi n’omusomesa okumanya wa omuyizi w’alina obunafu, okusobola okubukolako mu bbanga erisigaddeyo.
Entegeka y’ebigezo bino Byaruhanga yagambye nti emalayo ebisomeseddwa abayizi mu Pulayimale, era ewa omuyizi omukisa okumanya waayimiridde mu bisomesebwa ebimu.
Olwaleero abayizi batandise n’Okubala, enkya Social Studies ne ansa z’Okubala, ku Lwokusatu ereete Oluzungu ne ansa za Social Studies, ate ku Lwokuna efulumye Ssaayansi ne ansa z’Oluzungu. Ku mmande ya wiiki ejja, tuleete ansa za Ssaayansi.