Abayizi b'essomero 31 batwaliddwa mu ddwaaliro e Kamuli oluvannyuma lw'okufuna akabenje mu bbaasi mwe babadde batambulira bw'etomereganye ne loole.

Bbaasi eyaweddewo bw'efaanana
Akabenje kabaddewo ku ssaawa nga 3:00 n'ekitundu mu kiro ekikeesezza leero, ku kyalo Busota ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli, bbaasi nnamba UAZ 463E eya Buzaaya Secondary School bw'etomereganye ne loole nnamba UAB 272 W Tata.
Tata ebadde eva Kamuli okudda e Jinja ng'egezzaako okuyisa, nti kwe kusangayo bbaasi omubadde abayizi ba Nnalongo Secondary School e Namwendwa, ne bambalagana bwenyi.

Abayizi abaasimattuse nga batuusibwa mu ddwaaliro
Okukkakkana ng'abayizi 31 okuli abawala 20 n'abalenzi 11 nga bafunye ebisago eby’amaanyi era ne batwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Kamuli okufuna obujjanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti baddereeva bombi badduse era tebannamanyika bibakwatako era ng'okunoonyereza ku kivuddeko akabenje kugenda mu maaso.