ABA minisitule y’ebyenguudo balambudde oluguudo lw’eggaali y’omukka oluddaabirizibwa okuva e Tororo okutuuka e Gulu. Batandikidde Tororo ne badda e Magodesi, Mbale, Bukedea ne bakomekkerereza e Mukula mu disitulikiti y’e Kumi.
Okulambula kwakulembeddwaamu ssaabawandiisi wa minisitule y’ebyemirimu, Bageya Waiswa eyategeezezza nti ekigendererwa kya gavumenti okuzzaawo eggaali y’omukka kwe kwanguyiza ku bannansi okutambuza emigugu n’ebyamaguzi okuva e Malaba okutuuka e Gulu n’okweyongerayo e Pakwack kisobozese okugatta eby’obusuubuzi ku DR Conco ne South Sudan.
Kino kijja kuyamba abasuubuzi okutambuza ebyamaguzi ku bbeeyi entono.
Benon Kajura akulira eby’ekikugu mu minisitule y’ebyemirimu n’entambula yagambye nti oluguudo luno luliko kiromita 373.
Omulimu gwonna gwakuwemmenta obuwumbi bwa ssente 199.9bn nga basuubira okulumaliriza mu July w’omwaka guno.