Amawulire

Batenderezza Alex Mukulu olw'omukululo gw'alese mu nsiike ya katemba n'ebitone

BANNABYABUFUZI, abakulembeze okuva mu gavumenti ya wakati, n’obwakabaka bwa Buganda,bannakatemba n’abantu baabulijjo, beeyiye ku Lutikko e Namirembe okwetaba ku mukolo  ogw’okwebaza Katonda olw’emirimu gya munnakatemba omugenzi Alex Mukulu Kigoonya Nsubuga Mukulu.

Batenderezza Alex Mukulu olw'omukululo gw'alese mu nsiike ya katemba n'ebitone
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

BANNABYABUFUZI, abakulembeze okuva mu gavumenti ya wakati, n’obwakabaka bwa Buganda,bannakatemba n’abantu baabulijjo, beeyiye ku Lutikko e Namirembe okwetaba ku mukolo  ogw’okwebaza Katonda olw’emirimu gya munnakatemba omugenzi Alex Mukulu Kigoonya Nsubuga Mukulu.

Minisita Kamuli Kuteesa eyakiikiridde gavumenti eya wakati ng'ayogera

Minisita Kamuli Kuteesa eyakiikiridde gavumenti eya wakati ng'ayogera

Okusaba kwakulembeddwa ddiini wa Lutikko y’e Namirembe Rev. Canon Dunstan Kiwanuka Mazinga ng’ayambibwako abaweereza abalala, ng’ono yasabye bamulekwa okukuuma empisa n’omukululo kitaabwe by’alese era beewale okukaayanira ebintu bye n’okubitunda.

Yagambye nti, bannabitone omulimu gwe bakola mukulu eri eggwanga okulwanyisa  obwavu, endwadde, okugatta abantu ba mukama n’okubazzaamu essuubi.

Omulambo gwa Alex Mukulu nga gutuusibwa ku lutikko e Namirembe.

Omulambo gwa Alex Mukulu nga gutuusibwa ku lutikko e Namirembe.

Omubiri gwa Mukulu gwatuusiddwa ku lutikko mu bitiibwa nga kukulembeddwa poliisi ng’omukubugazi omukulu yabadde minisita omubeezi ow’ebyobuwanga n’enono Mary Kamuli Kuteesa.

Yagambye nti, Mukulu abadde munnakatemba ow’enjawulo atasangika nga kino kirabikira mu mizannyo gy’azannye ,ebitabo by’awandiise ssaako abantu b’akutteko n’asaba abakyali abalamu okumuyigirako.

Abamu ku bannabyabufuzi n'abeebitiibwa abaabadde mu kusabira Mukulu.

Abamu ku bannabyabufuzi n'abeebitiibwa abaabadde mu kusabira Mukulu.

Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule ku lw’Obwakabaka bwa Buganda,  yasabye bannabitone okulabira ku Mukulu bongere amaanyi mu mulimu gwabwe.

Bamulekwa nga bakulembeddwa Edgar Mukulu beebazizza bonna abababeereddewo n’atendereza kitaawe olw’okukozesa ekitone kye obulungi okusomesa eggwanga.

Yagambye nti yadde abantu abamu balowooza nti taata waabwe abadde yekka, nti  naye ekyo si kituufu,  babadde batambulira wamu nga ffamire kyokka tabadde muntu wa butaala era bingi bibadde bya twekisize.

Mikwano gya Mukulu n'abeng'anga nga baganzika ekimuli ku ssanduuke.

Mikwano gya Mukulu n'abeng'anga nga baganzika ekimuli ku ssanduuke.

Mukulu yazaalibwa abagenzi; Paul Kayizzi Lugayizi ne Victoria Ndagire Lugayizi,  ng’aziikiddwa leero e Kijabijo Nakwero ku luguudo lw’e Gayaza.

Basiimye gavumenti n'omukulembeze w'eggwanga okusiima n’awa Alex Mukulu okuziika okw’ekitiibwa ekisaanidde.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Alex Mukulu
Kutendereza
Mukululo
Nsiike
Namirembe