EKIKWEKWETO eky'okutereeza enguudo kiyite Trade Order, ku Mmande kyayindidde Buloba mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka era waliwo abaakwatiddwa olw'okwagala okulemesa abamenya obuyumba.
Bano baabatadde ku mpingu ne bateekebwa ku kabangali ne batwalibwa ku poliisi e Bulenga n'ebintu ebyaboyeddwa. Obwedda buli we basanga akayumba akatali ku mutindo nga bakakoona ennyondo n'ensuuluulu wakati mu bantu okukukkuluma.
Abasinga baalabiddwaako nga beegayirira akuliddemu ekikwekweto okubalekera ebintu byabwe kyokka nga naye abannyonnyola nga bwe baliwo mu bumenyi bw'amateeka. Wakati mu kikwekweto, waliwo ennyumba eyamenyeddwa era nnannyini yo n'ateekebwa ku kabangali lwa kujeemera kiragiro kya Trade Order n'azimba we batamulagidde.