Bannanyini makampi basabiddwa okufuba okutereeza embeera y'abakozi baabwe

BANNANNYINI  makampuni agakozesa abakozi bawereddwa amagezi okulowooza nga ku mbeera y’abakozi baabwe ne bwebayingiza katono bafube okulaba nga bakagabaana nabo.“Kituufu ffena abakozesa abakozi tusanze okusomozebwa kw’ebyenfuna mu kiseera ky’o muggalo wabula ffe ng’aba ‘Steel and Tube’ twasalawo nti akatono ketufunye tulina okukagabaana buli omu n’agenda nga mussanyufu” Bwatyo nannyini kampuni ya Steel And Tube.,  Joseph Yiga bweyategeezezza.

Bannanyini makampi basabiddwa okufuba okutereeza embeera y'abakozi baabwe
By Mutebi Joseph
Journalists @New Vision

BANNANNYINI  makampuni agakozesa abakozi bawereddwa amagezi okulowooza nga ku mbeera y’abakozi baabwe ne bwebayingiza katono bafube okulaba nga bakagabaana nabo.“Kituufu ffena abakozesa abakozi tusanze okusomozebwa kw’ebyenfuna mu kiseera ky’o muggalo wabula ffe ng’aba ‘Steel and Tube’ twasalawo nti akatono ketufunye tulina okukagabaana buli omu n’agenda nga mussanyufu” Bwatyo nannyini kampuni ya Steel And Tube.,  Joseph Yiga bweyategeezezza.

Bino Yiga yabyogeredde mu kitambiro ky’emissa ekyategekeddwa ku kitebbe kya kampuni eno e Namanve ku Lwokuna ku mukolo mwebasimidde abakozi baabwe abanywedde mu bannabwe akendo mu mwaka gwa 2021.

Gat 3(3)

Gat 3(3)

Yiga yagambye nti eky’okusawo ekitambiro kya missa buli nkommerero yamwaka kati kafukka kalombolombo nga beebazza mukama olw’ebyo byabayisizamu okumalako  omwaka guno kubanga emyaka gino ebbiri okuli 2020 ne 2021 tegibadde myangu.

Okusaba kuno kwakulembeddwamu Rev. Fr. Raymond Kalanzi owa Mother Tereza Ministries.Yakubiriza  abakozesa okufangaayo ennyo okubeerako akatono kebadiza abakozi baabwe kubanga kabonero akalaaga omukwano n’okusiima eri oyo abeera akukoledde omwaka omulamba naawe n’omuzzamu amaanyi.

            Abakozi  Rev .Fr. Raymond abawadde amagezi okukola emirimu gyabwe n’okwagala  wamu n’obumalirivu okusobola okutwala kkampuni gyebakoleera mu maaso kubanga kkampuni bwekola obulungi kigaasa enjuyi zombi.

Gat 8(2)

Gat 8(2)

            “Nsaba mwe bannyabo ne bassebo abakozi baawano  okukola ennyo musobole okubeera ba  Kabaka b'omulimu gwamwe era mubeere empologoma  y'omutale musobole okulya ensi eno yonna nga mukulaakulana” Bwatyo Faaza Raymond bweyategezezza.

Yayongeddeko nti abakozi balina okweyongera okubeera abayiiya mu bye bakola wamu n’okufuba okulaba nga bakola ebintu ebiri ku mutindo ogwa waggulu kisobole okufula kampubni yabwe ey’enjawulo nabo okubafula eky’omuwedo kibasoboozese okwongera okuwangula emitima gya bannannsi n’abaali ku lukalu lwa Afrika lwonna.

Bannayuganda  abawadde amagezi okujaguza amazaalibwa ka Yezu Kristu mu kitiibwa era nga teberabidde nti balina okutereeka ku nsimbi ezinabasobozesa okuzzaayo abaana baabwe mu massomero.

Ku mukolo gwe gumu abakulira kampuni eno basiimye abakozi baabwe  abanywedde mu bannabwe akendo ebirabo okuli TV, Gaasi afumba , Eggaali ne kalonda omulala.