Bannansi ba Tanzania babugaanyi essanyu okulaba ku Prophet Elvis Mbonye

BANNANSI b'eggwanga lya Tanzania baanirizza Musumba Prophet Elvis Mbonye eyagenze okubaliisa ekigambo kya Katonda okumala ennaku bbiri.

Prophet Elvis Mbonye ng'abuulira enjiri mu lukung'aana e Tanzania
By Deogratious Kiwanuka
Journalists @New Vision

BANNANSI b'eggwanga lya Tanzania baanirizza Musumba Prophet Elvis Mbonye eyagenze okubaliisa ekigambo kya Katonda okumala ennaku bbiri.

Abantu bamulindiriridde n'essanyu lingi okuviira ku kisaawe ky'ennyonyi okutuuka mu kifo ekimanyiddwa nga Dome Super Masaki Dar er Salaam mu  awaategekeddwa olukung'aana.. 

Prophet Mbonye ajjukirwa nnyo mu byafaayo bwa Tanzania bweyavaayo naawa obunabbi mu kulonda kwa Pulezidenti n'ategeeza nti nti Omugenzi Magufuli agenda kuwangula obwa Pulezidenti bw'eggwanga lino era ne kituukirira

Mu bigambo bya Prophet Mbonye asabye bannansi ya Tanzania okutambulira mu mbala z'obwa Katonda nga basonyiwagana naddala mu kiseera kino nga tuyingira omuggya ogwa 2025.