Bannalwengo muyige okweterekera ssente'

Amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa asabye Bannalwengo okuyiga okweterekera basole okweggya mu bwavu.

Thomas Tayebwa nga ayogera
By Florence Tumupende
Journalists @New Vision

Amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa asabye Bannalwengo okuyiga okweterekera basole okweggya mu bwavu.

Okwogera bino asinzidde ku mukolo gw’okusonda ensimbi z’okuzimba ekitebe ky’eggombolola y'e Malongo ku kyalo Kalagala mu disitulikiti ey’e Lwengo.

Tayebwa asiimye  Pulezidenti Museveni olw’obuyinza bwe yawa abakyala n’abavubuka ekitali mu mawanga amalala bw'atyo n'amusuubiza okwongeramu amaanyi mu mirimu gye eggwanga lisobole okukulaakulana.

Abamu Ku Batuuze Nga Bali Ku mukolo.

Abamu Ku Batuuze Nga Bali Ku mukolo.

Wabula yennyamidde olw’omululu ogusensedde abamu bakulembeze b’e Lwengo oguyinza okuvaako okufiiriza disitulikiti enkulaakulana n'asaba abalonzi okuzzaayo ababaka baabwe.

Mu nsawo y’abakyala ey’eggombolola ataddemu obukadde 10 ate ey’okuzimba ekitebe ky’eggombolola n'assaamu obukadde 20.

 Omubaka Namujju ne Muyanja Ssentaayi  abasitukiddemu okuggula ettaka kwe bagenda okuzimba ekitebe awamu  n’okusonda ensimbi z’okukizimba basiimye enkolagana gye balina ne basaba n'abakaka abalala okubayigirako.

Omubaka Omukyala Owa Lwengo Cissy Namujju N'omubaka Wa Bukoto West Muhamad Muyanja Ssentaayi Nga Bakwasa Amyuka Sipiika Wa Paramenti Thomas Tayebwa Endaagano Y'ettaka Eriweza Yiika Taano Lyebagulidde Eggombolola