Bannalukaya mu Kalungu abakyasattira olw'amazzi agaabazinze mu madduuka gaabwe basonze awavudde obuzibu bwe balowooza nti bwe bwavuddeko omugga Kattabazungu okujjula ne gubooga.
Omugga ogwasazeeko ekitundu.
Abasinze okubonaabona n'ekizibu kino be bagambibwa nti baazimba mu kkubo ly'omugga ne bataataaganya entambula yamazzi gaagwo.
Abakozesa oluguudo oluva e Lukaya okudda e Kyamuliibwa nabo bali mu kattu olw'omugga guno okubooga amazzi ne gabulizaamu akatindo ng'abakayitako batunda mwoyo.
Kiddiridde enkuba okutonnya n'ejjuza omugga Kattabazungu ogukutulira mu kabuga kano akali ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Omugga gwabooze amazzi ne gakulukutira mu madduuka g'abasuubuzi ekyabawalirizza okutabutana n'emmaali yaabwe.
Omugga Kattabazungu ogwabooze.
Omwawule w’e Lukaya Rev Samuel Ssendikwanawa n'omusumba wa balokole Wassajja kino bakitadde ku bataataaganya obutonde bw'ensi n'abazimba mu kkubo ly'amazzi. Bagambye nti omuggya Kattabazungu gwazibikirwa ekkubo lyago mwe gwayitanga okuyiwa ku nnyanja.
Rev. Ssendikwanawa afunye okutya olw'endwadde eziyinza okulwaza Bannalukaya nga ziva mu kazambi eyeetabuddetabudde mu mazzi gano.
Muzafaru Nsubuga,Willy Sseguya, Mathias Ssekabira,Wasswa Miranga n'abalala bavumiridde enkola embi ey'emirimo.
Abatambuze nga basomoka omugga Kattabazungu ku luguudo oluva e Lukaya okudda e Kyamuliibwa.
Bakitadde ku bateesereza eggwanga n'abassa mu nkola ebiteeseddwa obutalumirirwa bantu ba wansi ne beefaako bokka. Banokoddeyo eky'abaakola oluguudo lwa Kampala-Masaka nti mu Lukaya tebateekamu bigoma bimala okukutuza amazzi g'omugga Kattabazungu.
Abatuuze bano bagamba nti amazzi bwe gazze mu bungi gaabuliddwa we gakutulira ne geenoonyeza ekkubo ne banenya abasuulamu kasasiro.
Waliwo n'abeekwasizza Abachina abalimira mu Lwera ne bataataaganya entambula y'omugga guno nga tekyatuusa bulungi mazzi gaagwo ku nnyanja.
Basabye Pulezidenti Yoweri Museveni okugamba ku bakungu be mu Gavumenti baddemu okutereeza oluguudo mu kabuga kano okubawonya ekizibu kino nga batemera amazzi amakubo.