Amawulire

Bamulekwa bamenye olukomera lw'omugagga lwe yasibye ku poloti yaabwe n'agigatta ku yiye

Bamulekwa bali mu maziga olw'omugagga gwe balumiriza okutwala ettaka lyabwe era baasazeewo okumenya ekikomera omugagga kye yabadde yeetoolozza ku kifo bo kye bagamba nti kyabwe.

Bamulekwa bamenye olukomera lw'omugagga lwe yasibye ku poloti yaabwe n'agigatta ku yiye
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

Bamulekwa bali mu maziga olw'omugagga gwe balumiriza okutwala ettaka lyabwe era baasazeewo okumenya ekikomera omugagga kye yabadde yeetoolozza ku kifo bo kye bagamba nti kyabwe.

Omugagga abaanukudde nti akafo kaabwe katono era tebayinza kumulemesa kubanga asobola n'okulinda emyaka 15 abo abakaayana nga bafudde n'alyoka akozesa ekifo kye.

Abamu Ku Bamulekwa abalumiriza omugagga Bbaale okwagala okutwala poloti yaabwe.loti Yabwe. Ekif; Saul Wokulira

Abamu Ku Bamulekwa abalumiriza omugagga Bbaale okwagala okutwala poloti yaabwe.loti Yabwe. Ekif; Saul Wokulira

Baagenze okuzuukuka nga omugagga akubye ekibaati okwetooloola poloti yaabwe agigasse ku yiye.

Bamulekwa okuli Muganzi Tina ne banne bakulukusizza amaziga nga balumiriza omugagga Robert Bbaale okwesimba mu poloti eyabalekerwa nnyaabwe omugenzi Florence Nakamatte Nsereko eyali omusuubuzi w'emmwaanyi e Bugerere n'afa mu 1995.

Poloti ereese kalumanywera esangibwa Bwaise mu Jambula zzooni mu diviizoni y'e Kawempe mu Kampala.

Bamulekwa bagamba nti okuva Bbaale lwe yagula ekifo ekyali eky'omugenzi Hajj Haruna Ssemakula eyali amanyiddwa nga Spare parts yatandikirawo okubajojobya era nti yeewana nti alina abanene mu gavumenti ate Bamulekwa abakaayana baavu era tebamusobola.

Omugenzi Nakamatte Eyalekera Abaana Be Poloti. Ekif; Saul Wokulira

Omugenzi Nakamatte Eyalekera Abaana Be Poloti. Ekif; Saul Wokulira

Oluvannyuma lw'okutulaaga ezimu ku mpapula okuli kkopi y'ekyapa n'ebyava ku kwerura empenda baagenze ppaka mu kifo awali poloti ekibaati ky'omugagga ne bakikandulawo ne bakireka ku ttaka.

Bawanjagidde baminisita b'ebyettaka Judith Nalule Nabakoba ne Dr. Sam Mayanja wamu ne ofiisi ya pulezidenti babayambe kubanga omugagga akafo kaabwe ayagala kukatwala ku bwereere.

Omugagga Bbaale ku lukomo lw'essimu agambye nti bamulekwa akataka ke balina akamuliraanye katono nnyo ate n'ekyapa kirabika kyababulako era yayagala akabaguleko ku bukadde 70 ne bazigaana nga bo baagala obukadde 250 n'alayira nti tasobola kuzibawa.

 

Bbaale agambye nti wadde bamulaalaasizza nnyo nga bw'ayagala okubabba, yabawadde amagezi bakakkane bamutuukirire baddemu bateeseganye abawe ssente.

Aba LC I mu Jambula zzooni e Bwaise abaakulembeddwa Nabawanuka Masitula ow'abakyala bategeezezza nti poloti eno buli muntu agimanyi nti ya baana b'omugenzi Nakamatte eyali amanyiddwa nga Anti Flo, wabula omugagga agyesimbyemu ng’ayagala kugitwalira ku bwereere era ensonga zino bazituddemu enfunda eziwera.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Bamulekwa
Kumenya