Bakunyizza mbega wa poliisi ku bya ssente ze baggya ewa Sipapa

MBEGA wa poliisi AIP Elizapher Mpumbi eyakuliramu okwekenneenya n’okwaza amaka ga Charles Olim amanyiddwa nga Sipapa e Buwate nga bayigga obujulizi mu gw’okumenya amaka ga bannansi ba Sudan yagambye nti mukwaza amaka ga Sipapa, baasangayo ebintu ebyenjawulo era baabitwala ng’ebiziti, okuyambako mu kunonyereza.Mpumbi nga y’akulira okunoonyereza ku poliisi e Kabalagala yagambye nti bye baggyayo kwaliko ssente doola 70,000, ssente za Uganda 990,000/-, doola za Sudan 99,000, Euro 25 ne doola entono 27.

Sipapa ne mukyalawe.
NewVision Reporter
@NewVision

MBEGA wa poliisi AIP Elizapher Mpumbi eyakuliramu okwekenneenya n’okwaza amaka ga Charles Olim amanyiddwa nga Sipapa e Buwate nga bayigga obujulizi mu gw’okumenya amaka ga bannansi ba Sudan yagambye nti mukwaza amaka ga Sipapa, baasangayo ebintu ebyenjawulo era baabitwala ng’ebiziti, okuyambako mu kunonyereza.
Mpumbi nga y’akulira okunoonyereza ku poliisi e Kabalagala yagambye nti bye baggyayo kwaliko ssente doola 70,000, ssente za Uganda 990,000/-, doola za Sudan 99,000, Euro 25 ne doola entono 27.
Kuno baagattako ssimu nnya ekika kya iPhone engatto y’omukono gwa kkono ekika kya Adidas, akabookisi akaalimu ebigambibwa okubeera zaabu, ekyuma ekisaanuusa zaabu, ebyokwewunda by’abakala ebya zaabu, laptop ssatu okuli eya Dell, MacBook ne Apple. Baggyayo n’akuuma akakwata ebifaananyi aka DVR , ensawo ey’omu ngalo nga byonna byali bikukuliddwa mu kisenge kya Sipapa.
Nti baayaza mu sitoowa ne basangayo nnamba z’ebidduka okuli UBA 023U, UBJ 015 B, ekyuma ekikozesebwa okumenya, magalo, ebyuma bya mmotoka n’ebirala.
Mpumbi 30, yayanjulidde kkooti laptop, essimu, engatto n’ensawo eyalimu ebyokwewunda wabula bwe baamubuuzizza ku ssente ezaggyibwayo nga tazirina.
Mu kwewozaako, Mpumbi yategeezezza nga bwe kiri eky’obulabe okumala gatambula ne ssente. Kyokka looya wa Sipapa Henry Kunya yamujjukiza nti poliisi erina emmotoka z’obugombe nnyingi kw’esobola okuggyako emu n’ewerekera ssente okutuuka ku kkooti n’okuzizzaayo.
Wabula Moumbi yagumizza kkooti nti, ssente gyeziri mu sitoowa ya poliisi e Kabalagala naye alina akasumuluzo yabadde taliiwo, n’ekirala ye Mpumbi yakoma kuziggyayo ewa Sipapa olwo omuserikale omulala ye yazitwala mu sitoowa gy’asuubira nti gyeziri.
Mpumbi byayongedde okumutabukira bwe yategeezezza kkooti nti mu kwaza baaleeta buli kitongole kya byakwerinda kyokka bwe yabuuziddwa oba n’embwa za poliisi ezimanyiddwa K-9 unit zaaliwo n’agamba nti tebaazitwala.
Baabadde maaso g’omulamuzi Mike Elubu owa kkooti enkulu mu Kampala gye yategeerezza nti n’ebifaananyi bye yakuba mu maka ga Jacob Mul Arok ne Mary Ateng e Kawuku byabula.