ABADDE omumyuka wa Pulezidenti w'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) ow'omu Bugwanjuba bwa Uganda Jolly Mugisha afudde ku myaka 58.
Okusinziira ku nsonda mu NUP, Mugisha yafudde ttuntu lya ggulo mu ddwaliro lya Mbarara Regional Referral Hospital, gy'amaze wiiki eziwera nga muyi.
Mugisha eya fudde.
Amawulire g'okufa kwa Mugisha gaasanguziddwa Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), amubise ng'ayita ku mukutu gwe ogwa X eyayitibwanga Twitter n'agamba nti alijjukirwanga.
Kyagulanyi, ng'asinziira e Bungereza gye yatuuse ku Ssande, agambye nti Mugisha abadde mpagi luwagga mu kusimba emisingi gya NUP mu bitundu by'Obugwanjuba bwa Uganda n'eggwanga lyonna okutwaliza awamu.