Bakkansala ba munisipaali ye Nansana bavudde mu mbeera ne bayiwa olutuula lwa kanso nga entabwe evudde ku kasasiro asusse okumansibwa buli wamu.
Bano nga bakulembeddwamu kansala Tonny Bisoboka bagamba nti kikwasa ennaku okulaba nga kasasiro akyafuuse ekizibu ekyamaanyi kyokka nga obukiiko obwatekebwawo okulondoola ensonga eno budibagibwa abantu ab'olubatu ku munisipaali.
Mu kusooka bakansala balaze okutya olwa basirikale ababadde bebunguludde kanso eno era ne basaba sipiika Hamza Kasozi okulagira abasirikale bano okufuluma baddemu okuteesa.
Bakansala bano ababadde bawogganira waggulu basoose kukwata butebe kwebabadde batudde ne bamuwanika mu bbanga okulaga obutali bumativu olwo batwala kanso okulwawo okutuula kyokka nga bangi bagamba babadde bakedde wabula sipiika ne banne ne balwawo okutuuza kanso.
Rdc wa Nansana Ali Shafick Nsubuga wano wasinzidde nategeeza nga bwagenda okwongera okunonyereeza kwabo abali emabega w'okuddibaga ensonga ya kasasiiro ate nga abasolooza ssente nnyingi ku bantu